PULEZIDENTI Genero Wa DP Nobert Mao Azemu Nate Okulumba Bannakibiina Kya NUP Nabalangira Obutaba Na Mulamwa Guyinza Kutwala Byabufuzi Bya Uganda Mu Maaso, Okwemanya Eryanyi N’okulimbalimba Bannayuganda Okusobola Okuyisawo Ebyabwe N’okwekusa Ng’abaantu

BY PRESSUG PUBLICATION

PULEZIDENTI Genero Wa DP Nobert Mao Azemu Nate Okulumba Bannakibiina Kya NUP Nabalangira Obutaba Na Mulamwa Guyinza Kutwala Byabufuzi Bya Uganda Mu Maaso, Okwemanya Eryanyi N’okulimbalimba Bannayuganda Okusobola Okuyisawo Ebyabwe N’okwekusa Ng’abaantu

KAMPALA-UGAND|PRESSUG PUBLICATION|Ssenkagale wa DP Norbert Mao agamba nti kino kikyamu kubanga  abantu abatuufu abalina embala y’obukulembeze n'ebamala galonda NUP nga balowooza nti erina ekyenjawulo kyesobola okuleta naye ebintu byagiremerera era nti kati eri mu masanganzira temanyi kituufu kyakukola newankubadde ng'ebizibu byona byeyasubiza okujjawo bannayuganda beyagale bikyaliwo era bibakabya kayirigombe

Mao okwogera bino abade ku mukolo ogw'okusibulula abasiramu ogwategekeddwa ekibiina kya DP ku kitebbe kyabwe ekisangibwa ku lugudo lwa Balintuma e Mengo era nga okusibulula abasiramu kuno kwetabiddwako bannabyabufuzi nga Saddamu Gayira okuva mu kibiina kya PPP, Mohammed Kateregga okuva mu Jeema kwossa omunonyereza era omukugu mu kujjanjabisa eddagala ly’obutonde nga yeyavumbula eddagala lya sukaali ne kookolo David Ssenfuka, bannamateeka nga bakulembeddwamu Eria Nalukoola ababaka ba palamenti n’abantu abalala bangi.

Ono agamba nti ebyobufuzi ebikuze abantu n'ebwebaba balina obutakanya walina okubawo okuteeseganya nga n'olwekyo abalowooza nti basobola okukyusa embeera nga tebayise mu kukwatagana n’abanabwe berimba.


Ye Saddamu Gayiira mukwogera kwe atabukidde bannadiini olw'okusirika obusirisi n'ebabulwako kyebogera nga balaba eggwanga liwaba era nabalabula nti katonda wakubabuuza ebibuzo bingi kuki kyebakolawo bwebalaba ng'abantu bebakulembera mu nzikiriza babonabona.

Ye omuvumbuzi we ddagala ya kookolo ne sukaali David Ssenfuka wano weyasinzidde nasaba gavumenti okwongera amaanyi mu ndwadde ya kookolo ne sukaali kubanga abantu banji abalina endwadde eno ngate betaaga eddagala okusobola okuwona.


Ssenfuka era yasabye abantu okukomya okwejanjaba nabasaba okusooka okugendanga mu malwaliro olwo basobole okufuna obukakafu okuva eri abasawo nga tebanaba kwejanjaba.

Mungeri yemu Ssenfuka bano abawadde amagezi gabuwa okukuuma omubiri gwabwe nga mulamu obutasulirira Ddwaliro buli lwebawulira nga balina obukosefukosefu eri obulamu bwabwe nga yengeri yokka jebalina okuyitamu okwetangira ekirwadde kya sukaali ne kookolo.


Wabula omumyuuka wakulira ekibiina kya DP Mukasa Mbide alabude abo abaagala okubazanyirako mu DP n'abasaba okubeera abegendereza kuba bbo ensonga zaabwe baziropa eri omutonzi bwatyo nabategeza nti bwebaba baagala okutwala obuyinza batandikirewo okutambula kuba katonda ali wamu nabo .

For any comment or story please contact us at realmusisilwanga@gmail.com or send us a watsup on +256750660801

like
0
dislike
0
love
0
funny
0
angry
0
sad
0
wow
0