Bya Abu Batuusa
Ekikangabwa kibuutikikidde abatuuze ku Yesu Amala mu munisipaali y’e Nansana, mu disitulikiti y’e Wakiso abaagalana bwe bafunye obutakkaanya okukkakkana ng’omukazi afumise bba ekiso mu lubuto n’afa.
Abatuuze bategeezezza ng’omukazi ono kaggw’ensonyi ategeerekeseeko erya Ruth bw’afunye embavu oluvannyuma lw’okutta bba n’amusibira mu nnyumba olwo ye ebigere ne bimweyimirira.
Bano bagamba nti guno si gwe murundi ogusoose omukazi ono nga yeegeza mu kutta muganziwe David Lugemwa nga n’ogubadde gukyasembyeyo, embeera eyaliwo yawaliriza n’akulira poliisi y’oku Yesu Amala ategeerekeseeko erya Katongole okuyingira mu nsonga za bano wabula nga tekyabamalira gye biggweredde ng’omukazi asse muganziwe.
Baliraanwa ba bano bannyonnyodde nti entabwe yavudde ku Lugemwa kukomawo waka kikeerezi ng’ava okulaba omupiira ng’kyaddiridde kwabadde kuwaanyisiganya bigambo, kulwana na miranga nga bugenze okukeera ku makya nga Ruth yadduse dda nga ggwo omulambo gwa Lugemwa muganziwe agusibidde mu nnyumba mwe babadde basula.
Okisinziira ku jjajja w’omugenzi atayagadde kwatuukirizibwa mannya, atutegezeza nga muzzukuluwe bwe yatuuka n’okusenguka okuva e Nakulabye n’adda e Nansana lwa mukazi ono wabula nga waayita mbale ng’amuzudde gye yali asengukidde era naye n’asibamu engugu ze n’amusanga e Nansana gye yali asengukidde ate ne baddamu okubeera bombi.
Poliisi eyitiddwa ne yeekebejja enju era n’ezuula ekissi ekyakozeseddwa mu ttemu lino oluvanyuma omulambo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwongera okugwekebejja.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango akakasizza ettemu lino era n’ategeeza nga bwe babakanye n’omuyiggo gwa Ruth nga bw’anaakwatibwa baakumuvunaana gwa butemu.
Ate omumyuka w’omubaka wa gavumenti atwala munisipaali y’e Nansana RDC Shafiq Ali Nsubuga akuutidde abafumbo ababa bafunyeemu obutakkaanya mu maka bulijjo okwekubira enduulu mu b’obuyinza okulaba nga babayamba okugonjoola ensonga zaabwe.
Nsubuga bano abakuutidde n’okulaba ng’eby’omukwano bigaanye, okukkiriziganya baawukane mu bulungi okusinga okuttingana oba okwetusaako ebisago eby’amaanyi.
Related
Let others know by sharing