Trusted News Portal

Abasiraamu Bajjumbidde Okusaala Iddi e Kyebando

0

BYA ABU BATUUSA

Abasiraamu bakedde mu bungi okwetaba mu kusaala Iddi ku muzikiti gwa Masjid Centre e Kyebando mu disitulikiti y’e Wakiso. Sheikh Abubakali Sserunkuuma okuva e Nakasero y’akulembeddemu okusaala ng’akuutidde Abasiraamu okwewala amazambi omuli n’amasitaani.

Okusinziira ku beetabye mu kusaala kuno, bagambye nti Abasiraamu bakujjumbidde nnyo ekitatera kubeerawo.

Okusaala kutandise ku ssaawa ssatu ez’oku makya era nga basoose na kusonda ssente za kuzimba Muzikiti Abasiramu mwebanaasaaliranga.

Wakati mu kusoma Kkutubba, Sheikh Abubakali Sserunkuuma w’asabidde Abasiraamu okutwalanga obudde basabire ku nsi yaffe Uganda okulaba ng’emirembe gigibukalamu ate n’okusabira abakulembeze Allah abalungamye bulungi basobole okukulembera obulungi n’okukolanga okusalawo okutuufu okutanyigiriza bantu be bakulembera wadde okuteekamu kyekubiira.

Abamu ku bakyala abeetabye mu kusaala Iddi.

Ono akoonye ne ku kwekalakaasa okwasaanikidde ekibuga ku ntandikwa ya wiiki eno ng’entabwe eva ku misolo abasuubuzi gye bagamba nti tebagitegeera sso nga n’ekitongole ekisolooza omusolo ekya URA kikalambidde n’asaba enjuyi zombi zituule wansi ziteese wasobole okubeerawo okukkaanya buli ludda lukole nga tewali lunyigiriza lulala.

Sheikh Sserunkuuma wano w’asinzidde n’alabula Abasiraamu okwewala okukozesa amalogo nti Omusiraamu omutuufu tayinza kudda mu kusaddaaka bantu kuba ekyo Allah takikkiriza.

Ate ye Twaha Ssekamatte ng’ono y’amyuka ssentebe w’omuzikiti guno avumiridde abantu abaagala okubatwalako ekiffo kyabwe okuli omuzikiti guno nga baagala na kubasiba.

Ssekamatte alabudde nti ka kibe kki, eno mmaali ya Busiraamu etaliiko kabuuza era si beetegefu n’omulundi n’ogumu kugireka kutokomoka butokomosi nga batunula.

 

Let others know by sharing

Leave A Reply

Your email address will not be published.