Trusted News Portal

Minisita Wa Kabaka Alabudde Bannabyabufuzi Abasiga mu Bantu Obukyayi Okubakyayisa Obwakabaka

0

BYA TONNY EVANS NGABO

Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’amawulire n’okukunga era omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda Israel Kazibwe Kitooke alabudde bannabyabufuzi abagufudde omugano okubunyisa obubaka obusiga mu bantu ba Kabaka obukyayi n’ekigendererwa okubakyayisa Obwakabaka bwabwe.

Minisita Kazibwe agambye nti ensangi zino, eriyo bannabyabufuzi abagufudde omugano okusiga amawulire ag’obulimba mu bantu ba Kabaka nga beerimbika nga bbo Abaagala Obwakabaka ne Kabaka okukira abantu abasigadde bonna ne batandika okufuulafuula ebigambo nga n’ekivaamu kwe kusiga mu bantu obukyayi n’okukyusa endaba yaabwe ey’ensonga eri Obwakabaka bwa Buganda n’abaweereza baabwo.

Okwogera bino, Minisita Kazibwe asinzidde mu kutongoza omukago wakati wa Centenary Bank ne St Joseph Hospital e Wakiso nga bataddewo  enkola ey’okuyambako ku Bannayuganda okufuna obujjanjabi bw’amaaso ku bbeeyi ensaamusaamu.

Ono aggumizza nti bannakigwanyizi bano ne bwe banaakola batya, tebasuubira nti bayinza okuterebula oba okuggya abantu ba KAbaka ku mulamwa ogw’okwagala Kabaka waabwe n’Obuganda bwonna okutwalira awamu.

Ate atwala Centenary Bank mu ggwanga Fabian Kassi alaze abantu engeri bbanka eno gy’efaayo okuddiza ku Bannayuganda abagiwagidde ennyo n’agamba nti baliko enteekateeka nnyingi ze beenyigiddemu eziyamba n’okukulaakulanya abantu mu bitundu by’eggwanga byonna.

Vicar general w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Msgr Charles Kasibante asabye gavumenti okuvaayo okuyambako abantu ababoyaana mu kizibu ky’endwadde z’amaaso mu byalo naye nga tebalina busobozi kufuna bujjanjabi bwetaagisa.

Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza agambye nti Bannayuganda mu budde buno bateekeddwa okumanya enkozesa y’emitimbagano olw’abantu abayitiriza abagikozesa okukuma mu bantu omuliro n’okuvoola abalala ekitali kituufu.

Ssebwana ategeezezza nti wadde emitimbagano tegyandibadde mibi kuba eriyo abagikozesa okwekulaakulanya nga bayita mu kugitundirako ebyamaguzi byabwe, kyokka nti abo abagikozesa obubi bagyonoonye nnyo n’abasaba okweddako.

Ate ye Dr Nicholus Muganga nga y’akulira ekitongole ky’eby’obulamu era nga ye Ssenkulu wa St Joseph Hospital e Wakiso agamba nti newankubadde ng’obulwadde bw’amaaso bungi mu ggwanga, naye omuwendo gw’abasawo abakola omulimu gw’okujjanjaba amaaso ate batono ddala nga kye kyabawalirizza okutandika obuwereza buno mu Wakiso.

Managing director wa Centenary Bank mu ggwanga Fabian Kassi nga y’abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno ategezezza nga bank eno bw’eyongedde okukola emikago egy’enjawulo n’ebitongole ebitali bimu okusobola okuwereza Bannayuganda obulungi.

Mu lusiisira ly’eby’obulamu olwateereddwawo, abantu abasoba mu 300 be basobodde okufuna obujjanjabi bw’amaaso obw’obwereere.

 

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/minisita-wa-kabaka-alabudde-bannabyabufuzi-abasiga-mu-bantu-obukyayi-okubakyayisa-obwakabaka/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=minisita-wa-kabaka-alabudde-bannabyabufuzi-abasiga-mu-bantu-obukyayi-okubakyayisa-obwakabaka

Leave A Reply

Your email address will not be published.