Trusted News Portal

Maama Ndaga Taata Oba Ontwale mu Kika Kyange-Maama Bimusobedde!!!

0

Waliwo maama eyeekubidde enduulu ng’asaba kuyambibwa ng’entabwe eva ku musajja eyamusuulawo oluvannyuma lw’okumufunyisa olubuto emyaka 16 egiyise.

Yudaaya Nakimuli omutuuze ku kyalo Kabembe mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono amagezi gwe geesibye ng’agamba nti yayagalana n’omusajja Muhamood Ssekiziyivu bwe yali akolera e Seeta ekisangibwa mu kibuga ky’e Mukono kyokka ono olwakitegeera nti ali lubuto n’amuddukako.

Nakimuli agamba nti yaguma n’abeera n’olubuto n’aluzaala era omwana abadde amulabirira bulungi kyokka oluvannyuma lw’emyaka 16 ng’omwana ow’obulenzi gwe yazaala abadde amulabirira n’okumusomesa ng’omwaka oguwedde yakola P.7 era n’agiyita, kati mbu amwefuulidde emubanja taatawe eyagala kugenda mu kika kye.

Yannyonnyodde nti Ssekiziyivu akola gwa kukanika ffiriigi naye nga tamanyi wa waakutandikira kuba mu bbanga ery’emyaka 16, yakamulabako omulundi gumu nga n’essimu gye yamuwa bw’agikubako tatera kugikwata ate bw’agikwata tayogera okutuuka lwe yennyula ye n’aggyako.

Nga n’amaziga gamuyitamu, Nakimuli yatonnyonnyodde nti omwana ono amukanda okumutwala ewaabwe ng’olw’okulemwa okumuwa ky’amubanja, ono enneeyisa ye gy’ali yakyuka ng’amukambuwalira nnyo n’okumujeemera nga takyayagala na kukola by’amulagira.

Oluvannyuma lw’okubulwa eky’okukola, yategeezezza nti yagenda ku poliisi e Mukono ne yeekubira enduulu ne mu woofiisi y’akola ku by’amaka n’abaana ku disitulikiti e Mukono wadde nga n’eno teyafunayo kuyambibwa. Agamba nti baamusaba anoonye Ssekiziyivu bw’amuzuula agende ku poliisi abayite bamukwate wadde nga naye agamba nti ew’okumuggya tamanyiiwo.

“Nsaba abamanyi Ssekiziyivu akanika ffiriigi oba ab’oluganda lwe munnyambe mumuntuseeko kuba eky’okukolera omwana sikirina. Ate nga nange obulamu sikyalina ndi mulwadde n’ez’obujjanjabi siziraba. Nsaba buyambi bannange! Asobola okuyamba mu kusomesa omwana ono naye mmwaniriza kuba nakyo kizibu gye tuli kati,” bwe yategeezezza.

Wadde nga Nakimuli yafunayo abasajja abalala abazze bamuzaalamu abaana era nga bamuleka mu muzigo, ono agamba nti mwe mwajjira n’omu kw’abo eyamusiiga siriimu ng’ono n’okufa yafa n’amuleka n’omugugu gw’abaana.

Omwana omulenzi ono nnyina gwe yatuuma Muhamood Ssekiziyivu amannya ga kitaawe, ategeezezza nti nti ekimu ku bisinga n’okumukaluubiriza kwe kuba nti yakola P.7 omwaka oguwedde n’agiyita naye n’okutuuka olwaleero tannasobola kutandika kusoma ssiniya wadde nga kkwo okusoma akwagala.

Ono agamba nti afuna n’ebirooto eby’entiisa nga waliwo abamuyita okugenda ewaabwe gy’azaalibwa naye nga tabategeera nga n’ew’okutandikira talinaawo.

Omusasi waffe yakitegeddeko nti oluvannyuma lw’omuggalo gwa COVID 19, muwala w’omukyala ono omukulu yafumbirwa ku myaka emito nga ky’aggye amale P7 ng’era obuzibu bwava ku bbula lya nsimbi okumwongerayo okusoma.

Ng’eky’okunoonya kitaawe w’omwana akitadde ku bbali, Nakimuli ayagala abazirakisa okuvaayo bamuyambe okuweerera abaana ng’alina abaana bataano abatalina mwasirizi.

Bwe tumukubidde essimu, Ssekiziyivu olutegedde nga twogera ku nsonga za mutabaniwe essimu n’agiggyako.

Alina obuyambi eri omukyala ono ne mutabaniwe, kuba ku ssimu nnamba 0756288320 eri mu mannya ga Fatina Namuli.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/maama-ndaga-taata-oba-ontwale-mu-kika-kyange-maama-bimusobedde/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=maama-ndaga-taata-oba-ontwale-mu-kika-kyange-maama-bimusobedde

Leave A Reply

Your email address will not be published.