BYA KYAGGWE TV | MUKONO | Kkwaya z’Abadiventi ez’enjawulo okuli n’evudde mu Austria zikungaanidde ku kitebe ky’obulabirizi bwa East Buganda obwakatongozebwa mu kukuza olunaku lw’okuyimba mu bulabirizi muno.
Bano bakungaanidde ku kkanisa ya Mukono Central SDA Church esangibwa mu kibuga Mukono mu kusinza kwa ssabbiiti.
Kkwaya zino ziyimbye ennyimba ez’enjawulo ezitendereza omutonzi nga Wave Choir okuva mu Austria y’emu ku zino. Eno olumu ku luyimba lw’eyimbye lubadde mu Luganda ng’ababadde mu kusaba be beerabidde ku bakyeruppe nga bakoloobya mu lulimi Oluganda wakati mu maloboozi amanyunyuutivu, wamma ggwe ne gubula asala.
Kkwaya endala ebadde ya Kireka SDA Town Church choir okuva ku bulabirizi bwa Central Uganda Conference ng’eno y’ekulembeddemu okusinza kw’olunaku ssaako eya Mukono Central SDA town Church choir.
N’ey’abaami bokka ng’ekulembeddwamu omukadde Wilson Ssenrungogi, omukadde Apollo Mubiru, omukadde Babi Kimera nayo terutumiddwa mwana.
Pr. John Mafaabi akulira Institute of Applied Technology, ettendekero erisomesa abaweereza b’ekkanisa ya SDA erisangibwa mu Luwule mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono y’akulembeddemu okuyigiriza ng’asomesezza okuyimba okuviira ddala ku ssolofa.
Pr. Mafaabi alabula nti ssinga abayimba tebateekamu kulowooza ku bye bayimba, balina omukisa gwa kumwanjo nnyo okuwabya ekkanisa okugiggya ku mulamwa.
Omulabirizi omuggya ow’ekitundu kino, Jeremiah Alisengawa naye yeetabye mu kusinza kuno ng’ono akoowoodde abakkiriza okukwatira awamu okuzimba obulabirizi buno obukyali obuwere ddala.
Omukadde Wilson Sserunjogi akulira eby’enkulaakulana mu bulabirizi akulembeddemu okusonda ensimbi ez’okugula bbaasi ey’okutambuzanga abayimbi mu kkanisa eno. Ensimbi obukadde 60 ze zeetaagibwa okugula emmotoka ekika kya Coaster ey’abayimbi ba Mukono Central Church Choir.
Omuyambi wa RDC (Assistant RDC) Godfrey Mwogeza okuva mu munisipaali y’e Mukono y’abadde omugenyi omukulu ng’ono asiimye ekkanisa ya SDA olw’okuteeka amaanyi mu kuyimba ekiyambye abavubuka okukomawo mu kkanisa.
Mwogeza akunze Abadventi okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti omuli PDM, emyooga ssaako enteekateeka ya Grow egenda okuyamba abakyala abalina bbizinensi okufuna ensimbi okuva mu gavumenti bongere mu bbizinensi zaabwe ate nga bazzaayo ku magoba amatono ddala.
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/pr-mafaabi-alabudde-ku-ngeri-ennyimba-gye-ziyinza-okuwabya-ekkanisa/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=pr-mafaabi-alabudde-ku-ngeri-ennyimba-gye-ziyinza-okuwabya-ekkanisa