Trusted News Portal

Omukazi Eyasalako bba Obusajja N’adduka Poliisi Emukutte

0

Poliisi yakutte omukazi Susan Namuganza agambibwa okusalako bba obusajja n’abukutulako n’amuleka ng’ataawa ye ne yeddukira.

Moses Kawubanya, ye yasalibwako obusajja oluvannyuma lw’okufuna obutakkanya ne mukyalawe Namuganza.

Mu kiseera kino, Namuganza poliisi yamugguddeko musango gw’akugezaako kutta omuntu n’ogw’obubbi.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Busoga, Micheal Kasadha, Namuganza yasangiddwa ku kyalo Buwaga mu ggombolola ya Bulange mu disitulikiti y’e Namutumba ewa muganda we gye yaddukira oluvannyuma lw’okutuusa bba ku kyokya.

Ono kati alindiridde kugasimbagana n’omulamuzi wabula nga bba yasiibuddwa mu ddwaliro ku Bbalaza ya wiiki eno oluvanyuuma lw’okukuba ku matu.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/omukazi-eyasalako-bba-obusajja-nadduka-poliisi-emukutte/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=omukazi-eyasalako-bba-obusajja-nadduka-poliisi-emukutte

Leave A Reply

Your email address will not be published.