Ekiwayi ky’Abakulu b’ebika mu Buganda abaawalaazizza empaka ne bagenda e Namibia okulaba embeera Kabaka gy’alimu kibabuseeko bwe babagaanye okumulaba.
Bano baagenze beewera nti ka gwake, k’etonnye, teri kigenda kubaziyiza kulaba Kabaka era ne basuubiza nti baabadde baakukomawo e Uganda babuulire abantu ba Nnamunswa embeera gy’alimu, wabula bano bibakalidde ku matama bwe babagaanye wadde okumulengerako.
Okuva lwe baava kuno ne balinnya ennyonyi ne boolekera e Namibia ebigambo bibadde biyitingana lwaki bano baasalawo okwekutula ku mukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, agambibwa nti y’abatwala, Omutaka Augustine Kizito Mutumba akulira ekika ky’Ekkobe atakkaanya na kya kwawukana ku kulungamya kwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okugenda okulaba Kabaka.
Era wabaddewo okwebuuza ani awaga Bajjajja bano okutuuka n’okubayiwamu omusimbi ogwabalinnyisizza ennyonyi. Wabula oluvannyuma lw’okuboonoonekera ng’ayombera gy’asaka, ebigambo bivuddeyo;
Kigambibwa nti ekiwayi kya bano kye kizzenga kigenda mu State House Entebbe okusisinkana Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni nga bamutunuza mu nsonga ez’enjawulo omuli n’okumusaba okubazimbira woofiisi e Mengo okumpi n’ekkakkalabizo ekkulu erya Buganda ku Bulange ng’era kino yakikkiriza.
Kigambibwa nti era bano n’ensimbi ezaabatutte zaavudde mu State House kuba lwe baasembayo okugendayo, baasaba Presidenti Museveni abayambe bagende balabe ku Kabaka.
Ekiddako oluvannyuma lwa Bajjajja okubaziyiza okulaba ku Ssaabataka teri akimanyi.
Ebigambo bye Baayogera nga Bagenda e Namibia
Nga tebannasimbula ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe, Omukulu w’ekika ky’Effumbe, Omutaka Walusimbi Mbirozankya yayogerako n’ab’amawulire n’abategeeza nti kibakakatako okumanya embeera Kabaka gy’alimu nga teri muntu alina kubateekerawo lukomera okubaziyiza okumulaba.
“Kino Abataka bakikola nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ng’Abataka. Kubanga be bamulonda, be bamuteekako, era be bamukolako emikolo. Tuwulidde ebintu bingi ebyogerwa nga bibambibwa nti waliwo abantu abamu abalina obuvunaanyizibwa ku kumanya Kabaka bwali. Obwakabaka bwaffe bajjajjaffe baabuzimba mu mpagi eziggumidde, bulina abakozi, okuva ku Katikkiro, ab’ebitiibwa, ab’amasaza, abo bonna bakozi ba Bwakabaka bwa Buganda,” bw’annyonnyodde, n’agattako nti;
“Ab’obusolya, bbo be Bwakabaka bwa Buganda, kiba kya bulyazamaanya, okubeera ng’abakozi b’Obwakabaka bwa Buganda be babuulira Obwakabaka bwa Buganda embeera Ssaabasajja Kabaka mwali. N’olw’ekyo tusazeewo ng’Abataka, okugenda e Namibia okulaba Kabaka waffe bw’afaanana.”
Ttiimu yakulembeddwa Omutaka Kyaddondo, Lwomwa, Kasujja, Maweesano ng’esuubirwa okubuulira Obuganda amawulire amatuufu agafa ku Kabaka wa Buganda amangu ddala nga kye bajje bakomewo.
“Tetusuubira ng’Abataka, muntu yenna kutulemesa kulaba Ssaabasajja Kabaka, kubanga Ssaabataka waffe, ate Obuganda njagala okubutegeeza nti ffe abakulu b’ebika, ffe tuzaala Ssaabataka, era Abakulu b’Ebika, ffe tuzaala abaami, ekyo kitegeeza mu Bwakabaka tuli ba nkizo, tewali wantu wonna wasobola kutulema kutuuka, ku nsonga ezikwata ku Bwakabaka bwa Buganda,” Omutaka Mbirozankya bwe yannyonnyodde.
Kinajjukirwa nti Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga azzenga asimbira ekkuuli abantu bonna abazzenga basaba okulaba Kabaka mu mbeera gy’alimu nga mu bano mwe muli n’Abataka bano bennyini. Eno y’emu ku nsonga lwaki Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Omutaka Augustine Kizito Mutumba akulira ekika ky’Ekkobe bino yabyesambye nga tayagala kunyiiza Kamalabyonna.
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/ekiwayi-kyabakulu-bebika-mu-buganda-abaagenze-e-namibia-babagaanye-okulaba-kabaka/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=ekiwayi-kyabakulu-bebika-mu-buganda-abaagenze-e-namibia-babagaanye-okulaba-kabaka