BYA TONNY EVANS NGABO
| NAALYA | KYAGGWE TV |
Omu ku babaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z’abaana agamba nti ssinga tewabeerawo kikolebwa ku nsonga y’abaana abalenzi abatakyafiibwako ng’abazadde essira balitadde ku baana bawala, eggwanga lyolekedde okufuna omulembe gw’abaami abatalimu nsa.
Ono ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso Betty Ethel Naluyima nga yasinzidde ku ssomero lya Naalya Senior School erisangibwa mu munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso n’alaga obutali bumativu olw’omuwaatwa omunene ennyo ogulekeddwawo wakati w’abaana abawala n’abalenzi.
Naluyimba yategeezezza nti ne bwe babeera bazadde k’ebeere gavumenti, abaana abalenzi tebabafaako nga bakola buli kye baagala kyokka ate abawala ne bateekebwako nnyo amaanyi ekitalina muganyulo gwamaanyi eri eggwanga n’omulembe ogw’enkya.
“Abawala be tukuza obulungi nga tubateekako olukomera ate be tubateekerateekera, abaana abalenzi be tulese okugenda n’omulembe. Awo kye tukola tekiriiyo. Nsaba tuddeyo emabega tumanye we twakyamira, abaana tubakwate kyenkanyi, tukuze abaana abalenzi nga bali ku mulamwa, olwo lwe tujja okuteekawo omusingi gw’amaka ag’enkya omunywevu,” omubaka Naluyima bwe yalungamizza.
Okulungamya kuno, Naluyima yakukoze bwe yabadde mu kutalaaga amasomero mu nkola gye yatandikawo eya NAFFE TUSOME n’ategeeza nga bwe waliwo omuwaatwa ogw’amaanyi ku nkuza y’abalenzi n’abawala.
Nnaalongo Angella Kasobya, omukulu w’essomero lya Naalya S.S naye yakkaanyizza n’omubaka Naluyima n’agamba nti ensonga eno nkulu nnyo era nti ssinga abazadde tebasitukiramu mu bwangu ne batandika okuwa obudde n’abaana abalenzi omuli n’okulambika ku nkozesa y’emikutu emigatta bantu, eggwanga lyolekedde akaseera akazibu kuba kati abaana batandise kubeera bakyetwala.
Kasobya agamba nti eby’embi, abazadde abaana bwe bamala okulalambala nga babakwasa bbo abasomesa wadde nga nabo baba tebakyalina kyamaanyi kye baba bakyasobola kukola mu mbeera eno.
Wabula atte bbo abamu ku bayizi abaayogeddeko ne Kyaggwe TV nga bano baasabye abakulu mu minisitule y’ebyenjigiriza okwongera ensimbi mu kuyambako amasomero gasobole okufuna ebikozesebwa ebyetaagisa nga n’abazadde tebeesammudde buvunaanyizibwa bwabwe.
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/omubaka-naluyima-mwennyamivu-olwabazadde-abatakyafa-ku-baana-balenzi/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=omubaka-naluyima-mwennyamivu-olwabazadde-abatakyafa-ku-baana-balenzi
Hello. And Bye.