Amasaza ag’enjawulo gakyagenda mu maaso n’okweriisa enkuuli mu mupiira gw’amasaza 2024 sso ng’ate n’ezikyavuya nazo nnyingi.
Erimu ku gakyavuya y’e ttiimu y’essaza ly’e Buddu ng’eno ne gye buli eno ekyavuya. Bannabuddu bakubiddwa essaza ly’e Bugerere ku ggoolo 1-0 nga babadde ku bugenyi.
Ng’eno ssande ya kusatu bukyanga empaka z’omwaka guno ziggyibwako akawuuwo, ne bannantameggwa b’ekikopo kino ab’e Bulemeezi basobodde okufutiza ab’e Butambala ku ggoolo 2-0 sso ng’ate Ssingo ekubye Kkooki ku ggoolo 1-2.
Essaza ly’e Kyaggwe nalyo litandise okwekulula oluvannyuma lw’essaza ly’e Buweekula okulikwakkulako obubonero bubiri nga bano bagudde maliri wali ku kisaawe kya Bishop S.S Kyaggwe gy’ekyaliza ku ggoolo 1-1.
Kabula 1:0 Busiro
Kkooki 1:2 Ssingo
Bugerere 1:0 Buddu
Buvuma 0:0 Busujju
Mawokota 1:0 Ssese
Mawogola 1:0 Gomba
Kyaddondo 0:0 Buluuli
Kyaggwe 1:1 Buweekula
Bulemeezi 2:0 Butambala
#MasazaCup2024
Related
https://kyaggwetv.com/buddu-eyongedde-okuvuya-mu-gyamasaza-bugerere-eginyiyizza-endiba/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=buddu-eyongedde-okuvuya-mu-gyamasaza-bugerere-eginyiyizza-endiba