Bammeeya ba divizoni ez’enjawulo ennya ezikola munisipaali y’e Nansana, ssentebe w’eggombolola ya Wakiso Mumyuka, mmeeya wa divizoni y’e Namugongo wamu ne divizoni y’e Ndejje mu disitulikiti y’e Wakiso bavudde mu mbeera ne balaga obutali bumativu olwa minisitule y’eby’ensimbi okukwatanga ensimbi zaabwe ze basolooza mu misolo okumala ebbanga nga n’ezimu ku ssente zino teziddira ddala.
Bassentebe ne bammeeya bano bagamba nti eby’embi omwaka gw’eby’ensimbi gwaggwaka dda ekigootaanyizza obuweereza bw’emirimu mu bitundu byabwe.
Bano bakulembeddwamu mmeeya wa divizoni y’e Nansana, Ssalongo Joseph Matovu nga baasinzidde ku kitebe kya divizoni y’e Nansana mu lukungaana lwa bannamawulire ne bategeeza ng’abamu ku bbo bwe bamaze omwaka mulamba ng’ensimbi zino tezibatuukako.
Mu kiseera kino, bano baamaze dda okubaga ekiwandiiko nnamutayiika kye bagenda okutwala ew’akulira oludda oluvuganya gavumenti mu ppaalamenti Joel Ssenyonyi nga baagala ppaalamenti esobole okuteeka ku nninga minisitule eno okubaddiza ensimbi zaabwe basobole okukolera abantu abaabalonda.
Mmeeya wa divizoni y’e Gombe, Ronald Kasirivu Kabembula wamu ne Dr Sonko Shafic Ismail mmeeya wa divizoni y’e Ndejje mu Makindye-Ssabagabo baasabye ebitongole ebinonyereza ku bulyake n’obukenuzi okuvaayo okunonyereza ku bantu abeezibika ensimbi zaabwe ekiretedde obuwereza bwa gavumenti ez’ebitundu okufiira ddala.
Ate ye ssentebe w’eggombolola ya Wakiso mumyuka, Ssemujju Felix Mwanje ne mmeeya wa divizoni y’e Nabweru Jumba Kasimu bagamba nti ensimbi zino okulwawo wamu n’obutajjira ddala kibaviriddeko okubeera ku bunkenke obw’amaanyi nga ne bakkansala babula kubagwa mu bulago olw’obutafuna nsako yaabwe ng’atte n’abatuuze amaaso bagatadde ku bbo naddala ku nsonga za kasasiro, enguudo n’ensonga endala.
Ensimbi akawumbi kamu mw’obukadde bibiri mw’ana (1.24b) divizoni ennya ezikola Nansana Municipality abakulembeze baazo bagamba nti ze babanja nga tekuli nsimbi b’amagombolola nabo ze babanja gavumenti ya wakati.
Related
https://kyaggwetv.com/bammeeya-bebibuga-mu-wakiso-bavudde-mu-mbeera-lwa-nsimbi/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=bammeeya-bebibuga-mu-wakiso-bavudde-mu-mbeera-lwa-nsimbi