Omukazi agambibwa okuyiira munne asidi n’atwaliramu ne muwalawe ow’emyaka 12 kkooti gwe yali yakkiriza okweyimirirwa azzeemu n’asimbibwa mu kkooti okweyimirirwa kwe ne kusazibwamu.
Prossy Awusi amanyiddwa ennyo nga Maama Quin y’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti y’e Nakifuma Peter Bukina n’amusindika mu kkomera e Nakifuma.
Awusi ogumulangibwa gwe gw’okuyiira abantu babiri asidi okuli Sylvia Achola ne muwalawe ow’emyaka 12, Janet Kawuka.
Abalwadde mu kiseera kino bali mu ddwaliro e Kiruddu gye bali mu kujjanjabibwa oluvannyuma lw’embeera yaabwe okutabuka ne baggyibwa mu ddwaliro e Kayunga gye baddusibwa nga kye baggye bagwe ku kibabu. Bano we baaviira e Kayunga mu ddwaliro nga batandise okuvunda.
Kkooti okusalawo okusazaamu okweyimirirwa kwa Awusi kwava ku batuuze ku kyalo ky’e Kateete nga bakulembeddwamu ssentebe waakyo Godfrey Luyima okwekubira enduulu mu woofiisi ya RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka nga beemulugunya nti ono yali ayimbuddwa wadde ng’ali ku musango gwa nnaggomola ogw’okugezaako okutta abantu babiri ng’abayiira asidi nga n’embeera yaabwe mbi nnyo.
Mu kkooti omutakkiriziddwa b’amawulire omulamuzi ategeezezza nti ffayiro y’omusango gwa Awusi yayitibwa omuwaabi wa gavumenti atwala disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma okugyekebejja okulaba oba abatuuze bye baali beemulugunya byali bituufu.
Na bwe kityo, ono amusindise ku alimanda mu kkomera e Nakifuma okutuusa nga September 9, lw’alikomesezwawo nga ne ffayiro ye emaze okutunulwamu.
Ye RDC Ndisaba bw’atuukiriddwa awadde essuubi n’agamba nti oluvannyuma lwa Awusi okuddamu n’asindikibwa mu kkomera e Nakufuma, agenda kuba addamu okuvunaanibwa okusinziira ku kuwabulwa kwa Regional DPP eyayise ffayiro ye.
Ndisaba asiimye abatuuze n’ebitongole ebivuddeyo okuyamba omuli n’amalwaliro ery’e Kayunga n’e Kiruddu agawadde abalwadde obujjanjabi ssaako abantu abawaddeyo obuyambi bw’ensimbi ezeetaagibwa ennyo mu kiseera kino nga n’amateeka bwe gakola ogwago.
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/omukazi-eyayiira-maama-ne-muwalawe-asidi-asindikiddwa-mu-kkomera/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=omukazi-eyayiira-maama-ne-muwalawe-asidi-asindikiddwa-mu-kkomera