BYA TONNY EVANS NGABO
| WAKISO | KYAGGWE TV | Enteekateeka z’okudduka emisinde mubuna byalo egitegekeddwa ekigo kya St. Jude ziwedde nga gyakubeerawo ku Lwomukaaga lwa wiiki eno nga August 3, 2024.
Emisinde gino gigendereddwamu okusonda ensimbi ez’okuzimba Klezia empya ng’omulimu guno gugenda kutwala ebbanga lya myaka esatu nga gutojjera.
Bwanamukulu wa St. Jude Catholic Parish, Fr. Ronnie Mubiru agamba nti beetaaga ensimbi ezisoba mu buwumbi buna okusobola okuzimba klezia ey’omulembe. Fr. Mubiru agamba nti omulimu guno gugenda kuba gugendera mu mitendera ng’omutendera gwe baliko kati beetaaga ensimbi obukadde 150 ze basuubira okufuna okuva mu misinde eginabeerawo ku Lwomukaaga.
Fr. Mubiru asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire lw’atuuzizza ku Klezia e Wakiso n’akubiriza abakristu okujjumbira emisinde gino egigenda okusimbulwa Ssaabaminisita wa Uganda, Robinah Nabbanja.
Fr. Peter Clever Tamale nga y’amyuka bwanamukulu w’ekigo kino era nga y’akulira obuweereza bw’abavubuka asabye abavubuka okukozesa omukisa ogubawereddwa nabo okugatta ettoffaali mu kuzimba ennyumba ya Katonda nga bakadde baabwe bwe baakola.
John Mary Vianney Kyakonye Bugembe nga y’akulembedde enteekateeka z’emisinde gino egikulembeddwamu abavubuka asabye Bannauganda abatafunanga ndagamuntu okukoseza omukisa guno okujja okukwewandiisa n’ekitongole kya NIRA ekizivunaanyizibwako nabo basobole okuzifuna zibayambe okwanguwa obulamu.
Bugembe agambye nti era baakubeera n’abasawo abakugu abanaayambako okukebera n’okwekebejja abantu abanaaba beetaaga obuweereza bw’abasawo.
Alfred Bakyusa ssentebe w’olukiiko oluvunanyizibwa ku nkulaakulana mu parish eno atunnyonnyodde omulimu gwe boolekedde bwe gufaanana era n’obwetaavu bwe balina.
Related
https://kyaggwetv.com/aba-st-jude-wakiso-beeteekerateekera-misinde-mwe-banaasondera-ezokuzimba-klezia/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=aba-st-jude-wakiso-beeteekerateekera-misinde-mwe-banaasondera-ezokuzimba-klezia