Bya Abu Batuusa
Abaganda basabiddwa bulijjo okufuba okwewanga ekitiibwa ssaako okukuliza abaana baabwe mu mpisa era nga batya Katonda.
Bino bibadde mu bubaka bwa Mukuuma Mituba II mu ggombolola ly’e Katikamu mu ssaza lya Kabaka ery’e Bulemeezi, Cissy Sserunjogo mu kutuuza Ssaabawaali w’omuluka gw’e Kyalugondo mu disitulikiti y’e Luweero.
Kamya Kyobe Vincent y’atuuziddwa ne banne bwe bagenda okukulembera n’okuweerereza ku Kabaka omuluka guno ng’omukolo gubadde ku kyalo Gwafu-Bukolwa mu Wobulenzi ttawuni kkanso.
Essira liteekeddwa ku kukuuma obutonde bw’ensi nga n’olw’ensonga eno, bano basoose kusimba miti ng’omukolo tegunnagyibwako kawuuwo.
Wabaddewo okukuba engoma Ssaagalaagalamidde ng’akabonero ak’okukunga abantu ba Beene okusitukiramu okukola naddala emirimu gya bulungi bwa nsi mu muluka guno ne Buganda yonna okutwaliza awamu.
Ng’emikolo gigenda mu maaso, Kkangaawo akwasiddwa Ssaabawaali ng’akabonero ak’okumuwaayo eri Obwakabaka okuweereza Ssaabasajja Kabaka ng’amulamulirako omuluka guno. Ono amuyingizza mu mbuga y’obwa Ssaabawaali n’amutuuza mu ntebe mw’agenda okulamulira ensonga z’obwassaabawaali.
Ekiddiridde kubadde kulayiza abalidde obwami okuli Ssaabawaali Kamya Kyobe Vincent n’omumyukawe Rogers Kyabaggu.
Mu mbeera ya bayita abbiri bejjukanya, nga n’enviiri bwe zikubuulira omusezi, Kyabaggu atamyettamye mu kulayira kata kumuleme ng’era wano mukyalawe amuyambyeko okutuusa lw’alinnye ekirayiro kino ku nfeete.
Ye Cissy Sserunjogi ng’ono ye Mukuuma Mituba II mu Gombolola ye Katikamu akuutidde abazadde okukuza abaana baabwe mu mpisa baleme kwambala ngoye ezibakunamya baleme okwekwasa.
Ate Ssaabawaali atuuzidwa Kyobe Vincent asabye abavubuka okwewala ebikolwa ebibi okuli okwambala obubi n’okukozesa emitimbagano mu kuvuma n’okuvvoola abakulembeze baabwe ku mitendera gyonna.
Ye Martine Mussajj’akaawa ng’ono ayogedde ku lw’abavubuka agambye nti abavubuka bwe boogeddwako ennyo mu bikolwa ebikyamu era n’abasaba bave mu kukozesa emitimbagano obubi.
Wano Ntege Yosam akuutidde abatuuziddwa okwewa ebitiibwa baleme kubeera ng’ebitagasa okuli okutamiira okufuuka waddanya n’ebikolwa ebirala ebiswaza.
The post Abaganda Basabiddwa Okwewa Ekitiibwa N’okukuliza Abaana mu Mpisa appeared first on Kyaggwe TV.