Trusted News Portal

Abaliko Obulemu Basabye Abalamuzi Okuwa Ebibonerezo Ebikakali Abasajja Ababasobyako

0

Abakulembeze b’abantu abaliko obulemu ku mitendera egy’enjawulo beegayiridde abalamuzi n’abakulembeze mu ssiga eddamuzi bulijjo okugololanga ettumba bakaggw’ensonyi abakabasanya abantu abaliko obulemu.

Bano bagamba nti bamaddugaddenge bano baviiriddeko bannaabwe bangi okusiigibwa siriimu wamu n’okufunyisa embuto abatanneetuuka.

Omumbejja Mazzi Deborah  Nakayenga akiikirira abaliko obulemu ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Wakiso asinzidde ku Kolping Hotel mu Kampala mu musomo ogutegekeddwa ekitongole kya Paradigm for Social Justice and Development (PSD) ogugendereddwamu okubangula abavubuka okumanya ebikwata ku nkyukakyuka z’emibiri gyabwe n’agamba nti bayita mu kusoomoozebwa okw’amaanyi  olwa kkooti obutakkiriza bantu baabwe naddala bamuzibe obutakkirizibwa kuwa bujulizi sso nga ate abantu ababeera  babatuusizzaako ebikolobero babeera basobola okubaawula ku balala.

Omumbejja Mazzi agamba nti kino kiwadde abasajja abakabassanyu bamuzibe ebbeetu okusigala nga bayinaayina nga bakimanyi tebalina agenda kubavunaana.

Hadijah Nansubuga nga muteesiteesi omukulu mu kitongole kya PSD agamba nti basanze okusoomoozebwa okw’amaanyi mu bazadde nga bangi ku bbo balowooza okusomesa abaana ku nkyukyuka z’emibiri gyabwe babeera baboonoona ky’agambye nti ate obutabasomesa kye kiviiriddeko abaana okugwa mu nsobi ezandibadde zeewalika.

Ate ye amyuka Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Bettina Nantege asabye abazadde okukozesa obulungi oluwummula olwatandise okwogerezeganya n’abaana baabwe obutagwa mu nsobi ez’okutandika ebikolwa eby’ekikulu nga bakyali bato.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/abaliko-obulemu-basabye-abalamuzi-okuwa-ebibonerezo-ebikakali-abasajja-ababasobyako/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=abaliko-obulemu-basabye-abalamuzi-okuwa-ebibonerezo-ebikakali-abasajja-ababasobyako

Leave A Reply

Your email address will not be published.