Abantu 10 bakasiddwa nti bafiiridde mu kabenje akaagudde e Kibimba ku luguudo oluva e Bugiri okudda e Malaba akawungeezi ka monday nga 11 March,2024.
Akabenje kano kabaddemu emmotoka 6 okuli lukululana 2, Taxi 2 UAW 963 M, Landcruiser ne tanka.
Omwogezi wa police mu Busoga SSP Nandawua Diana agambye nti byebaakazuula biraga nti akabenje kaavudde ku Taxi No.963M eyabadde eyisa oluseregende lw’emmotoka kwekusanga lukululana.
ALSO READ: Bussi Island Receive Electricity For The First Time Ever
Taxi mu kugezaako okwewogoma mu mmotoka endala, yekoonye ku tanka negisiindikiriza n’egwa n’ekwata omuliro.
Nandawula alabudde abagoba b’ebidduka abavugisa ekimama n’okutikka obubindo, nagamba nti byebimu kubisinga okuviirako obubenje obumaze abantu.
Emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Bugiri, nga n’abakoseddwa bapookya n’ebisago mu ddwaliro.