Bya Tonny Evans Ngabo
Abasomesa abatannafuna buyigirize butuuka ku ddiguli baweereddwa amagezi okuddayo amangu basome ng’embeera tennaboonoonekera.
Godfrey Kiyingi Kinobe, atwala eby’enjigiriza mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti ssaawa yonna gavumenti egenda kuteeka mu nkola etteeka ly’abasomesa eriragira buli musomesa okubeera n’obuyigirize obwa ddiguli nga kino bwe kinaakolebwa bangi emirimu gyakuggwawo.
Kinobe bino yabyogeredde ku Wilsen Hotel e Nansana ku kabaga akayozaayoza abakulu b’amasomero ga pulayimale mukaaga mu disitulikiti y’e Wakiso nga bano beewangulidde ddiguli ey’okubiri (Master’s Degree) okuva ku m St Lawrence University n’asaba abasomesa bonna okwetegereza ensonga y’okwongerako ebitabo.
Kiyingi era yakkaatirizza nti enteekateeka ya minisitule y’eby’enjiriza okukomya abasomesa ba Grade III ku lukalala lw’abasomesa mu masomero ga gavumenti yaakuyambira ddala okutumbula omutindo gw’eby’enjigiriza mu ggwanga.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika yayambalidde abantu abakyalemeddwa okwawula obuyivu n’okugaggawala nga agamba nti enjogera eya nnasoma naye ssirina ssente eretedde abantu bangi okunafuwa wamu n’okukyawa okusoma bw’atyo n’asaba abantu naddala wano mu Buganda obutasaagirira ku nsonga y’okuwoma.
Ate ye William Bwambale akulira abakulu b’amasomero mu Wakiso yagambye nti kati bbo nga disitulikiti bamaliridde okuyambako abakulu b’amasomero okuddayo okufuna ddiguli ey’okubiri basobole okwekuumira ku ntikko mu kisaawe ky’eby’enjigiriza.
Related
Let others know by sharing