Ng’ebula ssaawa busaawa okutuuka ku mukolo gw’ow’ekitiibwa Mathias Mpuuga ogw’okwebaza Katonda olw’ebyo by’amukoledde ogunabeerawo olunaku olw’enkya ku Lwokutaano, abawagizibe n’ab’ekibiina kya NUP baalwanaganye.
Abawagizi ba Kyagulanyi n’ekibiina ki NUP baalubye aba kkamisona wa palamenti Mathias Mpuuga gye baabadde bakubye olukiiko olukunga abantu okubeerawo mu bungi ku mukolo gwa Mpuuga ne babasosonkereza okukkakkana nga beegudde mu malaka ne balwanagana.
Olukiiko luno lwabadde ku kyalo Nakiyaga mu ggombolola ye Buwunga mu Masaka era lwabadde lugendereddwamu okukunga abantu okugenda ku mukolo gw’okwebaza Katonda olw’obuweereza bw’ow’ekitiibwa Mathias Mpuuga wamu n’ebyo byamusobozesezza okukola n’okutuukako.
Emikolo gyakutandika na kusaba okunaabeera mu lutikko e Kitovu.
Kyagulanyi yafuna obutakkaanya ne Mpuuga ng’amulanga kwezibika ensimbi obukadde 500 ng’akasiimo ke beewa ne bakkamisona ba NRM basatu nga bbo baafuna obukadde 400 buli omu.
Kyagulanyi yasingisa Mpuuga omusango n’amulagira okuzzaayo ensimbi z’agamba nti yazifuna mu bukyamu n’amulagira n’okwetondera abantu ssaako okulekulira ekifo ky’obwa kkamisona.
Wabula ebyo byonna Mpuuga byamuyita ku mutwe nga mudalizo n’agaana okuzzaayo ensimbi obukadde 500 ssaako okulekulira ekifo ky’obwa kkamisona.
Wadde kaweefube yakolebwa ekibiina kya NUP ne kiwandiikira palamenti ne kiragira Mpuuga ave ku kifo ekyo asikizibwe Francis Zaake, bano baatengejjera busa, era baatema ku lw’e Namuganga kuba sipiika wa palamenti Anita Among ebyo bye baalagira byonna yabiziimuula.
Okuva kw’olwo, waliwo embiranye wakati wa Mpuuga n’abamukkiririzaamu ssaako ab’ekibiina ki NUP. Banna kibiina kya NUP nga bakulembeddwamu Kyagulanyi ssaako abawagizi baabwe bazzenga bavumirira Mpuuga n’okumusiiga enziro nga bamuyita mulyake.
Olw’ensonga eno, omubaka Theodore Ssekikubo yatandika kaweefube okukungaanya emikono gy’ababaka ba Palamenti okuggya obwesige mu bakkamisona ba palamenti abana abalangibwa okwezibika obukadde bw’ensimbi ez’akasiimo. Wabula omulimu guno Ssekikubo tegumubeeredde mwangu nga n’okutuuka kati emikono gikyamulemye okuweza.
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/abawagizi-ba-kyagulanyi-naba-mpuuga-bakubaganye/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=abawagizi-ba-kyagulanyi-naba-mpuuga-bakubaganye