Abazadde Bazinzeeko Ddayirekita Wa St. Augustine Schools e Nakifuma Olw’ebigezo by’aba S.4 UNEB bye Yakwata
Abazadde b’abayizi abaatulira ebigezo byabwe ebya S.4 ku ssomero lya St. Augustine Senior Secondary School e Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono bazinzeeko essomero ne balumba woofiisi ya ddayirekita ne bagasimbagana naye ng’entabwe eva ku bibuuzo by’abaana baabwe ebyakwatibwa UNEB olw’essomero lino okwenyigira mu kukoppa.
Dr. Martin Bbuye, ddayirekita w’amasomero ga St. Augustin Schools e Nakifuma y’atuuyanye nga bwe zikala abazadde bwe bamufundirizza mu woofiisi ne bamusaba addemu akana n’akataano lwaki ebigezo by’abaana baabwe byakwatibwa n’atafaayo kubannyonnyola kati emyezi ebiri egiyise.
Abazadde babadde bulembwe n’abaana baabwe nga bagamba nti n’eky’okuba nti ebigezo by’essomero lino UNEB yabikwata bazzenga babiwulira mu ngambo ng’essomero terivangayo kubategeeza mu butongole kye bagambye nti si kituufu naddala nga bbo ebisale by’essomero na buli kimu ekyetaagisa baakisasula nga kati essomero balibanja lizaatisi z’abayizi bano eza S.4 basobole okubongerayo mu S.5 nga bannaabwe.
Nga bakulembeddwa Monica Nakijoba, abazadde bawaanyisiganyizza ebisongovu ne Dr. Bbuye nga yeekokkola abaana baabwe okwenyigira mu kukoppa ate nga nabo bakiteeka ku ye n’essomero lye okubbira abaana baabwe ebigezo ng’ate bbo ebisale by’essomero baasasula bya kusomesa baana baabwe basobole okufuna obuvumu obuddamu ebibuuzo bya UNEB sso si kubabbira bigezo.
Nakijoba agamba nti ekisinze okubakwasa ennaku kwe kuba ng’ate essomero likukuta na baana baabwe ku masimu mu kifo ky’okuyita bbo ng’abazadde babategeeze kiki ekyaliwo na kiki ekigenda mu maaso.
Brenda Nakiganda omu ku bazadde agambye nti wadde baabadde basuubira essomero okubakwata obulungi babannyonnyole ekigenda mu maaso, ddayirekita tabaganyizza kubaako kye boogera mu bulungi n’abasaba bakwatagane n’abaana baabwe banoonye omusomesa eyababbira ebibuuzo ky’ategeezezza nti si kituufu.
“Si baana be baawa omusomesa omulimu n’olw’ekyo si be bamuvunaanyizibwako. Ddayirekita oba omukulu w’essomero be balina okutuwa omusomesa gwe bagamba nti ye yakoppera abayizi ebigezo kuba ne UNEB yamusaba naye tebaamutwala. Ffe ng’abazadde twasasula ebisale by’essomero era twagala ebyava mu bigezo by’abaana baffe basobole okweyongerayo mu S.5,” bw’annyonnyodde.
Omusomesa Herbert Ssebaggane abayizi gwe bagamba nti yabadde amaze emyaka ebiri okuva mu S.3 ng’abasomesa essomero lya Physics wabula ng’ekigezo kya ‘practical’ UNEB ky’egamba nti bano baakikoppa oluvannyuma lw’okuwandiika ebiddibwamu nga bye bimu wadde nga byali na bifu mbu nga bino kirowoozebwa nga nti omusomesa ye yabibawa.
Wabula Dr. Bbuye bano naye abambalidde ng’agamba nti naye abaana baabwe baamuswaza nnyo be yasomesa emyaka egyo gyonna okudda mu kukoppa ebibuuzo ne basiiga essomero lye ekifaananyi ekikyamu.
Ategeezezza nti ne UNEB bwe yabayise ku Lwokubiri lwa wiiki eno n’agenda nabo, bano baalemeddwa okwewolereza ne kisalibwawo nti ddala baakoppa ebibuuzo era balina kweteekerateekera kubiddamu mu October w’omwaka guno.
N’abayizi bannyonnyodde ne bagamba nti bbo n’ebbanga lye baamala nga basoma essomero teryalina mukulu wa ssomero nga mutabani wa ddayirekita ne ddayirekita yennyini be baakolanga ng’abakulu b’essomero ng’ate bwe baatuuse okugenda mu UNEB okwewozaako, ate ddayirekita yagenze n’omusajja gwe yatuumye omukulu w’essomero bbo gwe babadde batalabangako.
Bano beegaanye eby’okukoppa ne basaba essomero libawe ebibuuzo byabwe nabo beeyongereyo mu S.5 nga bannaabwe wadde nga ddayirekita abalumirizza nti bwe baabadde mu UNEB baalemereddwa okwewozaako nti ddala tebaakoppa.