BYA TONNY EVANS NGABO
Abakulembeze wamu ne ba kkontulakita abaaweebwa okukola enguudo mu munisipaali y’e Kira batandise kaweefube wa kugenda nju ku nju nga baperereza abantu abali okumpi n’enguudo eri mu pulaani y’okukolebwa mu nteekateeka ya Greater Kampala Metropolitan Area (GKMA) okubakkiriza okukola enguudo zino nga ne bwe kinaaba kyetaagisizza kuyitako mu taka lyabwe tebalina kusuubirwa kuliyirirwa.
Meeya wa Kira munisipaali, Julius Mutebi Nsubuga ategeezezza nti mu nteekateeka ya GKMA, evujjirirwa Bbanka y’ensi yonna, bagenda kubakolera enguudo nnyingi nnyo ezigenda okiyiibwa kkoolansi naye ng’eby’embi enteekateeka eno teriimu nsimbi zaakulirira bantu.
Mutebi ategeezezza nti wadde abamu ku bannanyini ttaka mu bitundu omugenda okuyisibwa enguudo bakkirizza enteekateeka eno okugenda mu maaso nga tebaliyiriddwa olw’obulungi bw’ebitundu byabwe, eriyo abamu ku bantu abakyagisimbidde ekkuuli nga baagala kumala kuliyirirwa sso ng’ate ensimbi teziriiwo.
“Tusazeewo tuve mu woofiisi tugende tusisinkane abantu bassekinnoomu tubalage obulungi obuli mu nteekateeka eno n’obulabe obuli mu kugiremesa kuba kiyinza okutuviirako okugiirwa pulogulaamu yonna,” Mutebi bwe yategeezezza.
Okwogera bino, Mutebi abadde akulembeddemu bakulembeze banne nga balambula ebitundu ezimu ku nguudo mwe zigenda okuyita. Agambye nti bagenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga boogerezeganya n’abatuuze babakkirize omulimu guno gugende mu maaaso ensimbi za bbanka y’ensi yonna zireme kubayita mu myaganya gya ngalo.
Meeya Mutebi era asinzidde wano n’akubiriza Bannayuganda obutamala gazimba nga tebafunye ppulaani ezibaweebwa abakugu nga bye bimu ku bizibu bye basanze nga abantu abasinga baava ku ppulaani ezaabaweebwa ne bakola byabwe.
Enguudo okuli Bishop Cyprian Kizito road oluva e Kira ppaka Kiwoligoma, Kungu- Bivanju oluva e Kyanja-Buwaate-Najjeera ne Mbogo road oluva Kiwatule ppaka Kira Road ze zimu ku zigenda okusookerwako mu nteekateeka eno eya GKMA.
Okusinziira ku Eng Sam Mwesigwa okuva mu minisitule ya Kampala agamba nti ne wankubadde nga tebagenda kuliyirira bantu naye abatuuze mu Kira abasinga enteekateeka bagiwagidde kuba bategedde bulungi ebirungi ebigirimu.
Ate ye Eng Nduga Noah okuva mu ATRO Engineering and management abaaweebwa omulimu gw’okukola ddizayini z’oluguudo luno agamba nti mukadde kano bakyagenda mu maaso okwekenneenya ddizayini ezaasooka okukolebwa aba Kira munisipaali okukakasa nti zituukana n’omutindo ogwetaagibwa.
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/abe-kira-basaba-bantu-kubakkiriza-kiyisaawo-nguudo-nga-tebabaliyiridde/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=abe-kira-basaba-bantu-kubakkiriza-kiyisaawo-nguudo-nga-tebabaliyiridde