| KYAGGWE TV | MMENGO | Abaganda baagera nti “akiika embuga amanya ensonga.” Na bwe kityo, Bannakyaggwe abasibuka mu ssaza ly’e Kyaggwe, Bannabuddu abava e Buddu ne Bannakyaddondwa ab’e Kyaddondo baakiise embuga ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda ku Bulange e Mmengo ne batwala oluwalo.
Bano bavuddemu omugatte gwa ssiringi za Uganda obukadde 35 bwe ddu.
Ow’ek: Israel Kazibwe y’abatikkudde oluwalo luno, ng’ono akubirizza abantu ba Kabaka okukozesa obwerufu mu mirimu gye bakola ssaako mu buweereza ku mitendera egy’enjawulo. Kazimbe era abakuutidde n’okutuukiriza ebyayisiddwa mu Nnamutayiika ne mu mbalirira ya Buganda.
Abakuutidde n’okukola n’obwerufu, okweyubula n’okuva mu nkola y’omulembe omukadde batambule n’omulembe omuggya, okukozesa eby’obuwangwa n’ennono ssaako okutwala Obwakabaka mu maaso.
Bannakyaggwe bakulembeddwamu Omumyuka ow’okubiri owa Ssekiboobo, Ow’ek: Fred Katende Kangavve, ng’eggombolola ezikiise kuliko; Mutuba XIV Malongo, Ssaabaddu Lufuka, Mutuba I Nakisunga, Musaale Nagojje, Musaale Butenga ne Ssaabaddu Ntenjeru.
#Luwalo2024
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/abe-kyaggwe-buddu-ne-kyaddondo-bakiise-embuga-oluwalo-lwa-bukadde-35-lwe-lutikkuddwa/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=abe-kyaggwe-buddu-ne-kyaddondo-bakiise-embuga-oluwalo-lwa-bukadde-35-lwe-lutikkuddwa
Comments are closed.