BYA TONNY EVANS NGABO
Poliisi n’amajje bikubye amasasi mu bbanga ssaako omukka ogubalagala nga balemesa akulira oludda oluvuganya mu paalamenti, Joel Ssenyonyi ssaako ababaka ba palamenti wamu n’abakulembeze abalala ababadde bagenze okulaba abatuuze mu Lubigi ekisangibwa mu munisipaali y’e Nansana ekitongole ekivunaanyizibwa ku buttonde bw’ensi ekya NEMA be baamenyedde amayumba gaabwe n’ebintu ebirala omuli ne bbizinensi.
Bano NEMA yabalanze kwesenza mu kifo ky’egamba nti lutobazzi mu kaweefube waayo gw’eriko ow’okugoba abo bonna abeesenza mu ntobazzi ekiviiriddeko okukosa obutonde bw’ensi mu ngeri ez’enjawulo.
Ssenyonyi ne banne ab’eby’okwerinda tebaabaganyizza kugenda mu maaso na kulambula kifo mwamenyebwa mayumba n’ebakubamu amasasi n’omukka ogubalagala ne babuna emiwabo. Bino byabaddewo ku Mmande mu ttuntu.
Ssenyonyi mu kwogerako n’abatuuze yabasabye okwekolamu omulimu beerondemu abakulembeze mu nteekateeka gy’ayagala okulaba nga basisinkana n’abakulembera ekitongole kya NEMA okusala entotto ku ngeri gye bayinza okuyambibwamu.
Omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Wakiso Betty Ethel Naluyima yagambye nti ssikyabwenkanya okunyigiriza abantu baabulijjo nga abagagga baalekeddwa nga bayinaayina. Yategeezezza nti mu kifo kyennyini ekya Lubigi amayumba g’abanaku gye gaamenyeddwa, essundiro ly’amafuta erya Stabex ddyo baalireseewo nga liyimiridde kye yagambye nti si kituufu.
Bbo abamu ku batuuze bagamba nti ekitongole kya NEMA tekyabawadde mukisa kubawuliriza nga bakola kimu kya kumenya nyumba zaabwe nga mu kadde kano tebamanyi kyakuzzaako.
Abatuuze mu kadde kano bagamba nti ssibakuzikiza baakugenda mu maaso n’okunonya obwenkanya okuli n’abateekateeka okukuba NEMA mu kkooti bawerennembe nayo mu mateeka.
Mu kiseera kye kimu, Ssenyonyi avumiridde ekya poliisi n’amagye okumulemesa wamu neb akulembeze banne ababadde bagenze okulambula abatuuze mu Lubigi abaakoseddwa oluvannyuma lwa NEMA okusaanyawo amayumba gaabwe ne basigala ttayo.
Ssenyonyi okwogera bino yasinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe kya NUP e Makerere-Kavule n’ategeeza nga bwe kibadde tekyetaagisa poliisi okubakubamu amasasi wamu n’omukka ogubalagala bwe babadde bagenze okuwuliririza obulumi abatuuze bwe bayitamu mu kiseera kino.
Ssenyonyi asabye ekitongole kya NEMA obutakyamukirira nga bakola emirimu gyabwe wabula basooke batuule n’abatuuze kubanga abasinga bazimba mu bifo bino ng’ekitongole kino kibalaba.
Related
https://kyaggwetv.com/amasasi-ne-ttiya-ggaasi-bonyoose-nga-poliisi-egumbulula-lop-ssenyonyi-ne-banne-mu-lubigi/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=amasasi-ne-ttiya-ggaasi-bonyoose-nga-poliisi-egumbulula-lop-ssenyonyi-ne-banne-mu-lubigi
Comments are closed.