Trusted News Portal

Bambi! Minisitule Esazizzaamu Ddiguli ya Pr. Bugingo

0

| KYAGGWE TV | KAMPALA | Pr. Aloysius Bugingo, kabiitewe Susan Makula n’abagoberezi be aba House of Prayer Ministries ennaku gye balina tegambibwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti ddiguli omukulu gye yafuna oluvannyuma lw’okukuba emisomo gy’obukulu oluku mu mutwe, ate Minisitule y’eby’enjigiriza ng’eyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’enjigiriza mu matendekero aga waggulu ekya National Council for Higher Education (NCHE) yagisazizzaamu.

Ddiguli ya Pr. Bugingo okusazibwamu kyavudde ku kuba nti yunivasite mwe yagisomera terina bisaanyizo bigikkiriza kusomesa mu ggwanga nga na bwe kityo, n’obuyigirize bwe yagaba bwonna we twogerera mpewo nga muno mwe muli ne ddiguli y’Omusumba Bugingo!

Mu mwaka gwa 2022, Pr. Bugingo yatikkirwa ddiguli mu by’eddiini okuva mu Kayiwa International University eya Pr. Simeon Kayima, nannyini kkanisa ya Namirembe Christian Church.

Bannakibiina kya NUP e Mukono Batutte Omubaka Nambooze Ewa IGG-Ensonga Ziva ku Nsimbi za Muwi wa Musolo

Pr. Kayiwa ng’ali n’abamu ku bakulu abaddukanya Kayiwa International University okuli Polofeesa Tonny Karbo amyuka cansala waayo ne Dr. Benon Byamugisha nga ye ssentebe w’akakiiko akalondoola yunivasite eno baasisinkanye abakulira NCHE wiiki ewedde abaabasabye okwennyonnyolako lwaki bagenda mu maaso n’okuddukanya yunivasite eyaggalwawo olw’obutaba na bisaanyizo.

Prof. Mary Okwakol nga y’akulira NCHE kennyini yasisinkanye Pr. Kayiwa ne banne n’abakunya olw’okugenda mu maaso nga baddukanya yunivasite wadde ng’eno yaweebwa dda ebbaluwa egiragira okuggalawo olw’obutaba na bisaanyizo.

Wabula Pr. Kayiwa yeegaanye eby’okulaba ku bbaluwa eggalawo yunivasite ye n’agamba nti omwaka 2020 ab’akakiiko ka NCHE mwe bagamba nti mwe baabaweera ebbaluwa ebaggala, eggwanga lyali mu muggalo gwa COVID 19 ng’amatendekero g’eby’enjigiriza gonna maggale nga n’abantu tebakkirizibwa kutambula nga na bwe kityo yeewuunya ate butya ebbaluwa eno gye yabatuusibwako nga ne yunivasite yennyini yali nzigale ng’ekiragiro kya gavumenti bwe kyali kyalambika.

Ng’olukiiko lukyagenda mu maaso, Prof. Okwakol yazudde ebbaluwa eraga nti ate oluvannyuma lw’okuggalawo yunivasite eno, ate waliwo ebbaluwa endala eyabaweebwa ng’ebakkiriza okuggulawo nga n’ekyasinze okumuggya enviiri ku mutwe kwe kuba nti ate ebbaluwa eno yali ateekeddwako mukono gwe ye kennyini.

Ono yeegaanye okuwandiika n’okuteeka omukono ku bbaluwa eno era bwatyo n’ayita poliisi okubaako by’ebuuza abakungu ba yunivasite eno.

Okwakol yakizzeemu nti Kayiwa International University teriiwo mu mateeka era nti n’abo bonna abaagitikkirirwamu okuva mu mwaka gwa 2020 ebiwandiiko bye balina bifi bwe fuffululu ffu.

Na bwe kityo, Pr. Aloysius Bugingo y’omu ku baatikkirwa mu yunivasite eno mu June 2020 nga yasomerayo era n’atikkirwa ddiguli mu by’eddiini nga kino kikakasa nti omukulu ddiguli ye nfu.

*Source – Bukedde Olupapula*

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/bambi-minisitule-esazizzaamu-ddiguli-ya-pr-bugingo/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=bambi-minisitule-esazizzaamu-ddiguli-ya-pr-bugingo

Leave A Reply

Your email address will not be published.