Ebifaananyi 60 Eby’okulambula kwa Kyagulanyi e Mukono-Abantu Beeyiye mu Bungi e Ntaawo Okumulaga Obuwagizi
Robert Kyagulanyi Ssentamu abasinga gwe bamanyi nga Bobi Wine alaze amaanyi bw’abadde mu kulambula disitulikiti y’e Mukono mu kaweefube w’ekibiina kye ekya National Unity Platform (NUP) gw’aliko ow’okukikungira obuwagizi.
Kyagulanyi abadde n’ababaka ba palamenti abawerera ddala abali ku kkaadi ya NUP nga bano babadde banyumye mu kkala z’ekibiina emmyufu ng’abalala bambadde obukofiira obumanyiddwa nga beret, ovulo emmyufu ng’ebisinga ku bino biriko ekifaananyi kya pulinsipo.
Bano bakulembeddwa akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Joel Ssenyonyi, omubaka w’ekibuga Mukono Betty Nambooze Bakireke, omubaka wa Mukono North, Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni, omubaka wa disitulikiti y’e Mukono omukyala Hanifa Nabukeera, omubaka wa munisipaali y’e Lugazi, Stephen Sserubula.
Ababaka abagenyi bakulembeddwa Muhammad Muwanga Kivumbi owa Butambala, owa Mawokota North, Hilary Kiyaga amanyiddwa ennyo nga Dr. Hilderman, Ronald Nsubuga Balimwezo n’abalala. N’abakulembeze abalala ab’ekibiina okuli Secretary general David Lewis Lubongoya, ssaabakunzi w’ekibiina Nyanzi Ssentamu, Waiswa Mufumbiro omwogezi w’ekibiina n’abalala.
Kyagulanyi abasiimye olw’obutamulekerera n’agamba nti kino kye bakoze wakati mu kulemesebwa poliisi ne bataggwamu maanyi kye kiruma Museveni n’okumuteeka ku bunkenke n’atuuka okusula ng’atunula olw’amaanyi g’abantu.
Kyagulanyi ategeezezza nti wadde poliisi yagezezzaako okubatataaganya n’ekyusa ebifo mwe babadde bagenda okukuba olukungaana lwabwe emirundi esatu okuva mu ppaaka ya takisi e Mukono ne badda mu kisaawe mu Njogezi nayo ne babaggyayo ne babasindika e Ntaawo ku kisaawe nga balowooza babasindise mu nsiko tebaafune bantu, Bannamukono bagiswazizza bwe bazze mu bungi okumulaga obuwagizi.
Nambooze aloopye ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa ewa Kyagulanyi olw’okwekyusiza mu lulime ne mu luzise n’amujeemera nga wadde abadde Mukono, ne mu lukiiko luno talinnyeewo.
Nambooze asabye Kyagulanyi olukusa abafaanana nga Bakaluba abafunire ba ‘dangerous substitute’ abanadda mu bifo byabwe mu kulonda kwa 2026.
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/ebifaananyi-60-ebyokulambula-kwa-kyagulanyi-e-mukono-abantu-beeyiye-mu-bungi-e-ntaawo-okumulaga-obuwagizi/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=ebifaananyi-60-ebyokulambula-kwa-kyagulanyi-e-mukono-abantu-beeyiye-mu-bungi-e-ntaawo-okumulaga-obuwagizi