Trusted News Portal

Eddwaliro lya Herona Litandise Okulongoosa abalwadde B’amaaso Ag’ensenke ku Bwereere

| MUKONO | KYAGGWE TV | Oluvannyuma lw’okutongoza olusiisira lw’eby’obulamu olulimu okulongoosa abalwadde b’amaaso ag’ensenke ku ddwaliro lya Herona Hospital e Kisoga mu disitulikiti y’e Mukono, okwatandise mu butongole ku Lwomukaaga nga July 27, abalwadde abasoba mu 40 be baakalongoosebwa.

Okusinziira ku Dr. Henry Mukalazi omutandisi w’eddwaliro lino, kino bakikoze ng’akabonero ak’okujaguliza awamu ne Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II n’Obuganda bwonna olw’omatikkira ga Maasomoogi ag’omulundi ogwa 31 agagenda okubeera olunaku lw’enkya ku Lwokusatu nga July 31.

Omusawo ng’ateekateeka omulwadde mu ‘theatre’ ng’abulako katono okugenda okulongoosebwa.

Dr. Mukalazi ategeezezza nti okulongoosa amaaso bakukolera bwereere ate nga kino kigenda kutambulira ddala okutuuka mu mwezi gwa December nga basuubira nti waakiri abalwadde abasoba mu 200 be banaaganyulwa mu nteekateeka eno.

Yagambye nti Kabaka yaggulawo obujjanjabi bw’amaaso mu ddwaliro lino mu mwaka gwa 2018 bwe yali mu kulambula essaza ly’e Kyaggwe ng’okuva kw’olwo bazze bawa abantu obujjanjabi bw’amaaso omuli n’okutegeka ensiisira mwe balongooseza abantu amaaso ku bwereere ng’abalwadde abasoba mu 300 be baakaganyulwa mu nteekateeka ekika kino.

Dr. Henry G. Mukalazi owa Herona Hospital e Kisoga.

Mukalazi yagasseeko nti wadde obulwadde buno obw’ensenke bukwata n’abaana abato n’abavubuka, wabula businga kukosa nnyo abantu ababa bakuze mu myaka ng’eby’embi bano tebabeera na nsimbi zeetaagibwa kulongoosebwa.

Dr. Susan Kikira, omukugu mu ndwadde z’amaaso nga ye yakuliddemu okulongoosa abalwadde bano yategeezezza nti waliwo ensonga nnyingi eziviirako abantu okufuna obulwadde bw’amaaso obw’ensenke omuli abakyala abalwala obulwadde bwa nnamusuna nga bali mbuto ne bubaviirako okuzaala abaana ng’amaaso malwadde enseke, abantu bwe bakula mu myaka ne baweza emyaka 50, ssaako ssinga oli afuna ekintu ne kimukuba ku liiso.

Dr. Susan Kikira, omukugu mu ndwadde z’amaaso.

Dr. Kikira yategeezezza nti eriyo abantu abagamba nti amaaso g’ensenke olw’okuba gabeerako ekifu mbu bagakolokota ne kivaako oba oluusi okuggyamu emmunye ne bateekamu ey’endiga by’agambye nti ebyo wolokoso kuba si bituufu. Agamba nti bateekako akalabirwamu akazungu oli n’addamu n’alaba bulungi.

See also  Ow’emyaka Ebiri Attiddwa mu Bukambwe-Bamutunguddemu Amaaso ne Bamusalako Omutwe!

Yagasseeko nti okulongoosa obulwadde bw’ensenke ku maaso kitwala ssente eziwerako okusinziira ku ddwaliro oli gy’aba agenze nga zitandikira ku mitwalo nga 80 ne zeeyongerayo oluusi n’okutuuka ku bukadde busatu.

Dr. Susan Kikira n’abasawo bwe bali ku ddimu ly’okulongoosa abalwadde b’ensenke ku maaso ku ddwaliro lya Herona e Kisoga.

“Waliwo engeri nnyingi eziyitibwamu nga tulongoosa nga ne zino nazo zisalawo ku nsimbi ezisabibwa omulwadde. Amalwaliro g’obwannanyini galina enkola ez’omulembe ze gakozesa nga zino ze zireetera ensimbi ezisabibwa okupaluuka oluusi ne zituuka ne mu bukadde bw’ensimbi nga busatu,” bwe yattaanyizza.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/eddwaliro-lya-herona-litandise-okulongoosa-abalwadde-bamaaso-agensenke-ku-bwereere/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=eddwaliro-lya-herona-litandise-okulongoosa-abalwadde-bamaaso-agensenke-ku-bwereere

Author

Comments are closed.