BYA ABU BATUUSA
| KYAGGWE TV | NANSANA | Abantu be Nansana mu Lubigi NEMA be yasendedde amayumba n’okwonoonera ebintu ng’ebalanga kwesenza mu Lutobazzi bafunye ku buweerero ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) David Lewis Lubongoya bw’abakubyeko obuyambi bw’emmere.
Abantu bano okubadde abakadde n’abaana babadde bamaze ennaku nga balaajana eri abazirakisa nga basaba okudduukirirwa n’emmere ssaako ebikozesebwa.
Olw’omulanga ogwo bano gwe baakuba, abantu ab’enjawulo balabiddwako nga babadduukirira nga kubo kwaliko n’omugagga Hajji Hassan Bulwadda eyabawa yiika z’ettaka ttaano okusobola okubeerako we bazimba ennyumba okubasobozesa bbo n’abaana baabwe okuwoona empewo.
Mu bamu abazze balabibwako nga badduukirira abantu bano mwe muli n’omubaka w’ekitundu kino ekya Nansana Munisipality ssaako akulira oludda oluvuganya mu palamenti (LOP) Joel Ssenyonyi wadde ng’ono poliisi ssaako ab’amagye tebaamuganya kutuukayo kulambula Bantu ne bamutwala nga talinnya n’ababaka ba palamenti be yali nabo n’abakulembeze abalala ku mitendera egya wansi. Poliisi Ssenyonyi ne banne yabakubamu omukka ogubalagala ne babuna emiwabo.
Mu ntandikwa, akulira abayimbi ba b’ennyimba z’eddiini y’asoose okutuuka ng’ono asobodde okubadduukirira n’ebintu omuli bulangiti n’ebirala.
Oluvanyuma Ssaabawandisi wa NUP Lubongoya yatuuse olwo abantu ne bafa essanyu okumulabako era nga ayanirizeddwa kkansala John Bosco Sserunkuu7ma Kaanakaambata nga bano babadde mu bunkenke nga batya Poliisi okubayiribya.
Lubongoya ayogeddeko ne bannamawulire wakati mubunkenke nga obwedda ayogera bw’amagamaga nga bwagamba nga Poliisi bw’ekola ekikyamu okulemesa abantu bano okufina obuyambi.
Abamu ku baweereddwa ebintu basiimye nyo ebintu ebibaweereddwa kubanga babadde basiiba njala ng’eky’okulya tebakiraba.
NEMA ekyatukizza ng’omulimu gw’okusenda abantu mu Lubigi bwe guli mu mateeka era nti ekikwekweto kino kikyagenda my maaso nga olunaku lw’eggulo waabaddewo vvaawo mpitewo nga NEMA emenya ekkanisa ya Nabbi Bright Muyingo.
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/ekibiina-kya-nup-kidduukiridde-abe-lubigi-nema-be-yamenyedde-amayumba/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=ekibiina-kya-nup-kidduukiridde-abe-lubigi-nema-be-yamenyedde-amayumba