Eria Lwasi Buzaabo alondeddwa ku bwa Lwomwa, ng’ono ye mukulu w’Ekika ky’Endiga. Lwasi y’abadde Katikkiro wa Lwomwa omubuze Ying. Daniel Bbosa.
Lwasi ayanjuddwa ewa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ng’oluvannyuma ono y’anaamwanjula ewa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Lwomwa omuggya okukumaakuma bazzukulu be, n’okukimanya nti Ssaabasajja Kabaka ye Ssaabataka.
Katikkiro w’Ekika ky’Endiga, Paul Luyombo Kiyingi y’akoze omukolo gw’okwanjulira Katikkiro Mayiga Lwomwa omuggya.
Lwomwa abaddeko, Ying. Daniel Bbosa yakubiddwa amasasi agaamuttiddewo ku Ssande bwe yabadde ava okulambula ku bazzukulu b’e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono mu ssaza ly’e Kyaggwe.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi, Fred Enanga, Lwomwa yakubibwa amasasi bazzukulu be bennyini ab’eddira Endiga ku Ssande e Lungujja olw’eggulo ssaawa nga zoolekedde 12 ez’olw’eggulo.
Abatemu kuliko Enock Sserunkuuma omutuuze w’e Lungujja mu divizoni y’e Lubaga wabula ng’eby’embi ye yattiddwa abatuuze oluvannyuma lw’okubagoba ne babakwata nga bamaze okutta Omutaka Lwomwa.
Enanga yagambye nti omulala nga ye yasimattuse n’ebisago ebyamutiisiddwako ebbiina ly’abatuuze ye Noah Luggya ng’ono ali mu ddwaliro e Mulago gy’afunira obujjanjabi wakati mu bukuumi bwa poliisi obw’amaanyi.
Emikolo gy’okuziika Lwomwa Ying. Daniel Bbosa gibadde gikyesibye ng’obuzibu buva ku kuba nti Omukulu w’ekika kyonna ssinga afa, takkirizibwa kuziikibwa okuleka nga bamaze okulonda anaamuddira mu bigere.
Mu kiseera kino oluvannyuma lwa Lwomwa omuggya okulondebwa, enteekateeka z’okuziika Ying. Bbosa gigenda kutandika okuteekebwa mu nkola.
Comments are closed.