Trusted News Portal

FA Esazizzaamu Red Card ya Bruno Fernandez Aba Man U Ne Bacacanca

0

Bazzukulu ba Sir Alex Ferguson, abawagira ttiimu Manchester United bali mu kuzina gunteese oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti Red Card eyaweebwa captain waabwe FA egisazizzaamu.

Nga basamba ttiimu ya Tottenham ku Sunday, nga September 29, 2024, mu mupiira mwe baa awangulira ku ggoolo ssatu ku bwereere, captain wa Man U, Bruno Fernandez yaweebwa kkaadi emmyuufu era abadde waakusubwa emipiira esatu ekibadde kigenda okukosa ennyo ttiimu.

Kyokka olwa leero, FA esazizzaamu Red Card eno ne kiwa ttiimu ebbeetu okusambisa omusambi waayo nga teri agikuba ku mukono.

Ttiimu ya Liverpool yeekulembedde ekimeeza mu kiseera kino n’obubonero 15 n’eddirirwa Manchester City n’obubonero 14 sso ng’ate Arsenal eri mu kyakusatu n’obubonero 14 nga Chelsea y’eri my ky’okuna n’obubonero 13 n’eddirirwa Aston Villa, Fulham ne Newcastle United.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/fa-esazizzaamu-red-card-ya-bruno-fernandez-aba-man-u-ne-bacacanca/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=fa-esazizzaamu-red-card-ya-bruno-fernandez-aba-man-u-ne-bacacanca

Leave A Reply

Your email address will not be published.