Bya Tonny Evans Ngabo
Mu kiseera ng’eggwanga likyabooyana n’ekizibu ky’ebbuggumu ery’amaanyi sso ng’ate enkuba lw’etonnye eggyiramu kibuyaga ow’amaanyi n’agoya ebyalo ebiwerako mu bitundu by’eggwanga eb’enjawulo nga bino abakugu mu nsonga z’obutonde babitunuza ku kya kusanyaawo buttoned bwa nsi, Minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi ewera nkolokooto nti bagenda kukufuggaza abo bonna abkyalemedde mu ntobazi n’abasanyaawo ebibira bya gavumenti.
Bano bagamba nti ku lunno balumye n’ogw’engulu okukwata ku nkoona abantu abamalawo entobazi mu ggwanga nga baatandise na kya kukuba mu byapa ebifo byonna ebiri mu ntobazi okulaba nga gavumenti ebeera n’obuwandiike obukwata ku bifo ebyo.
Wanyama Wilberforce avunanyizibwa ku nsonga z’okusengula abantu mu ntobazi okuva mu minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi yasinzidde ku ssomero lya Madina Islamic S.S e Nsangi Katereke mu ttawuni kkanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso ng’eno disitulikiti gye yakulizza olunaku lw’entobazi n’ategeeza nga kati ku luno bwe bazze n’enkuba empya ey’okumalawo abasanyaawo entobazi.
Wanyama yategeezezza nga bwe batandise ne kaweefube okulaba nga basomesa abantu okwetoloola Uganda yonna nga bayita mu nnyimba n’okuzannya emizannyo.
Rebecca Ssaabaganzi nga y’atwala eby’obutonde bw’ensi mu disitulikiti y’e Wakiso yakukkulumidde gavumenti olw’obutafaayo kuwa woofiisi ye nsimbi zimala nga balina abakozi batono ddala nga kibabeerera kizibu okulawuna ebifo ebikosebwa mpozzi nga n’amaanyi n’obuyinza obwanganga abeeyita abanene abeenyigira mu mulimu gw’okusanyaawo entobazi nga baziyiwamu ettaka n’okuzizimbamu naddala amakolero nabwo tebaulina.
Amyuka akulira abakozi mu disitulikiti y’e Wakiso, Betty Nankindu wamu ne Namuddu Cate avunanyizibwa ku butonde bw’ensi ku lukiiko lwa kkanso ya disitulikiti y’e Wakiso omusango gw’okumalawo entobazi baagutadde ku kitongole kya NEMA ekigaba olukusa (license) eri abantu abazimba mu ntobazi nga n’ebiseera ebisinga ensonga bazimalira waggulu nga ne disitulikiti be kikwatako tebalina kye bamanyi.
Ebitundu 16 ku buli 100 ku ttaka mu disitulikiti y’e Wakiso biri mu mu ntobazi naye ng’omuwendo gw’abantu abeeyongera buli lukya mu disitulikiti gutadde akazito akamaanyi ku kubeerawo kw’ebifo ng’entobazi n’ebibira.
Related
Let others know by sharing