Trusted News Portal

Gavumenti ne Minisitule Y’eby’obulamu Basabiddwa Basabiddwa Okutuusa Obujjanjabi Bwa Kkansa mu Byalo

0

BYA TONNY EVANS NGABO

| KYAGGWE TV | MENDE-WAKISO | Ng’eggwanga likyali mu mwezi gw’okwefumiitiriza wamu n’okumanyisibwa ku kirwadde kya kkookolo (cancer), gavumenti ne Minisitule y’eby’obulamu bisabiddwa okulowooza ku nsonga y’okugayiza obuweereza ku bujjanjabi bw’ekirwadde kino eky’eyongedde okuwanika amatanga mu Bannayuganda ensangi zino.

Okusinziira ku bibalo, we twogerera nga Bannayuganda abawerera ddala 33,000 be bazuulibwamu obulwadde bwa kkansa mu Uganda buli mwaka wabula nga ku bbo 7,400 be bagenda okufuna obujjanjabi ku ddwaliro e Mulago mu kitongole ekijjanjaba abalwadde ba kkansa ki Uganda Cancer Institute (UCI).

Bannakyewa abakyala abeegattira mu kitongole kya Uganda Women’s Cancer Support Organisation (UWOCASO) basinzidde ku ddwaliro lya Banda Health Centre II mu ggombolola y’e Mende mu disitulikiti y’e Wakiso ne bagamba nti mu kiseera ng’ekirwadde kino kitta abantu abawerera ddala obukadde kkumi buli mwaka okwetoloola  ensi yonna, gavumenti ya Uganda yandibadde esitukiramu okwongera amaanyi mu kulwanyisa ekirwadde kino.

Gatrude Nakigudde akulira emirimu mu kitongole kino ng’era y’omu ku batandisi baakyo agamba nti obujjanjabi bwa kkansa okubeera mu Kampala wokka kiviiriddeko abantu abawera okufiira mu byalo olw’obutaba na busobozi mu by’entambula.

Ate ye Pr. Denise Atwine nga naye y’omu ku baasimatuka ekirwadde kino asabye abakulira eddwaliro lya Uganda Cancer Institute e Mulago  okuteekawo ekifo eky’enjawulo  eri abalwadde ba kkansa abali mu mbeera embi  obutakanga bantu balala abatandika obutandisi okufuna obujjanjabi buno.

“Olw’embeera ekirwadde kya kkansa gye kifuulamu abalwadde naddala abo ababa batandise ku bujjanjabi omuli n’okukalirirwa (chemotherapy) ababa baakazuulibwa nti balina kkansa bwe babalaba e Mulago ku UCI, bano batya nnyo ate ne kikosa embeera y’obulamu bwabwe. Twetaaga gavumenti ng’ekolera wamu ne UCI, bateekewo ekifo eky’enjawulo abo ababa ku bujjanjabi gye babeera n’ababa baakatandika obujjanjabi,” Pr. Atwine bwe yannyonnyodde.

See also  Gavumenti Y’e Namibia Ekakasizza ku Kubeera kwa Kabaka e Namibia-Afuna Bujjanjabi si Musibe

Wabula bbo bakawoonawo b’obulwadde bwa kkookolo baalaze bye baayitamu nga bamaze okusimattuka ekimbe kino omuli n’abaagalwa baabwe okubaddukako nga balowooza nti tebakyasobola kutambuza bulungi nsonga za maka naddala ez’omukisenge.

Waabaddewo n’olusiisira lw’eby’obulamu ng’era abantu abawerako baakebeddwa ebika bya kkansa eby’enjawulo, akawuka ka mukenenya n’eddwadde endala nnyingi ku bwereere.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/gavumenti-ne-minisitule-yebyobulamu-basabiddwa-basabiddwa-okutuusa-obujjanjabi-bwa-kkansa-mu-byalo/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=gavumenti-ne-minisitule-yebyobulamu-basabiddwa-basabiddwa-okutuusa-obujjanjabi-bwa-kkansa-mu-byalo

Author

Leave A Reply

Your email address will not be published.