Trusted News Portal

Gavumenti Y’e Namibia Ekakasizza ku Kubeera kwa Kabaka e Namibia-Afuna Bujjanjabi si Musibe

0

Oluvannyuma lw’Abaganda ab’enjawulo okuvaayo ne batandika okwemulugunyiza abakulu mu nsi y’e Namibia nga bagamba nga bwe bateebereza okuba nga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ali mu busibe e Namibia, gavumenti yaayo evuddeyo n’etangaaza.

Gavumenti y’e Namibia okuyita mu Ambasadda Martin Andjaba mu kiwandiiko kye yawandiise nga May 24, 2024, ng’adda mu kwebuuza oba okwemulugunya okwandiikibwa omu ku Baganda ng’ayagala okumanya ku bikwata ku bulamu bwa Kabaka, yategeezezza nti Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi si musibe era nga gyali mu Namibia ateredde ntende.

Yategeezezza nga Kabaka bwe yatuuka e Namibia mu April 2024 ku bugenyi bw’okujjanjabibwa nga ne mu kiseera kino, Kabaka ali mu Okonguarri Psychotherapeutic Centre mu Outjo mu ssaza ly’e Kunene.

Ku ky’okusaba okugenda okulambula ku Kabaka, Ambasada Andjaba yategeezezza nti abakulu mu gavumenti e Namibia ekyo tebakirinaako buzibu ssinga emitendera egikwata ku kuyingira mu nsi eyo gibeera giyitiddwamu bulungi.

Ng’afundikira, Ambasada yategeezezza nti eby’okwerinda bya Kabaka byayongeddwamu amaanyi okulaba ng’abeera bulungi mu nsi yaabwe (Namibia) nga tafunye buzibu bwonna.

Ng’asinziira mu lukiiko lwa Buganda, Prof. Badru Kateregga yasaba Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okukkiriza Abaganda abeesobola okugenda e Namibia Kabaka gy’ali mu kujjanjabibwa bamulabeko olwo emitima gisobole okubakka, bayambeko n’okutegeeza Abaganda abasigadde embeera gy’alimu kisobole okutoowolokosa ku mitima gy’abantu abalowooza nti oba oly’awo embeera gy’alimu si nnungi.

Wabula mu kumwanukula, Katikkiro yategeeza nti kino tekisoboka kuba Abaganda abeesobola bangi nnyo era abalina ennyonta mu kulaba ku Kabaka, nga ssinga babawa ekyanya, okugenda okumulaba n’akataayi tekasala.

Wabula yagattako nti okugenda e Namibia Kabaka abasawo be baamulagira kugenda kuwummula aveeko mu Bwakabaka abantu n’emirimu gy’akolako gye bisukka obungi n’abulwa obudde obuwummula.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/gavumenti-ye-namibia-ekakasizza-ku-kubeera-kwa-kabaka-e-namibia-afuna-bujjanjabi-si-musibe/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=gavumenti-ye-namibia-ekakasizza-ku-kubeera-kwa-kabaka-e-namibia-afuna-bujjanjabi-si-musibe

Leave A Reply

Your email address will not be published.