Trusted News Portal

Kabaka Asiimye Ssekiboobo Boogere N’amuwa Emmotoka Ng’ekirabo Olw’obuweereza Obulungi

0

Abadde Ssekiboobo atwala essaza ly’e Kyaggwe, Elijah Boogere Lubanga Mulembya, Ssaabasajja Kabaka gwe yasiimye awummule oluvannyuma lw’emyaka etaano egy’obuweereza awaddeyo woofiisi eri amuddidde mu bigere.

Omukolo guno ogubadde ku mbuga y’essaza ly’e Kyaggwe gukoleddwa mu maaso ga Minisita wa gavumenti ez’ebitundu e Mengo Joseph Kawuki n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo ku mutendera gwa gavumenti eya wakati n’obwakabaka bwa Buganda mu ssaza lino ery’e Kyaggwe.

Minisita Kawuki ng’akwasa Ssekiboobo Booegere ekisumuluzo ky’emmotoka Kabaka gy’asiimye n’amuwa ng’akasiimo olw’obuweereza obulungi.

Nga ky’aggye atuuke ku mbuga y’essaza, Minisita Kawuki yasoose kulambula mbuga y’essaza n’emirimu egikolebwa ssaako ettaka ly’embuga gye liyitira nga wano Ssekiboobo awummula w’atwalidde omukisa okumuloopera abasatuusi (ababbi b’ettaka) abatalina nsonyi nga n’ettaka ly’embuga y’essaza baalibba ng’eryali liwezaako yiika 50 tezikyawera sso nga n’eryo eryasigalawo nalyo beefunyiridde okwongera okulibba bakubirira bakubirire.

Ono alambudde n’essomero lya Ssekiboobo P/S erya bonnabasome wabula nga lino engeri gye likozesaamu ettaka ly’embuga omuli okugenda ng’ebizimbe bamansa bimanse tebisanyudde Minisita n’asaba be kikutteko okuvaayo balambulule ebikwata ku ssomero lino oba ddala lya Bwakabaka oba nedda era bwe kiba nga lya Bwakabaka, kiragibwe mu bulambulukufu era bamanye we likoma mu kukozesa ettaka ly’embuga.

“Ekyo bwe kitaakolebwe, ab’essomero bajja kutuuka okusima kaabuyonjo y’abayizi mu luggya lw’embuga nga bbo tebafuddeeyo. N’olw’ekyo njagala Ssekiboobo omuggya okwatagane n’aba Namulondo Events ku nsonga eyo esobole okuggusibwa eve mu ddiiro,” bw’agambye.

Oluvannyuma lw’okulambula, Ssekiboobo atutte Minisita mu woofiisi n’ateeka omukono mu kitabo ne yeeyanza omukisa Ssaabasajja Kabaka gw’amuwadde okumuweererezaako ng’okusooka yatandika ng’ow’eggombolola ya Nnanfumbabi e Ntenjeru ate oluvannyuma n’amusuumusa n’afuuka ow’essaza ly’e Kyaggwe, obuweereza bw’akoze n’omutima gumu.

Minisita Kawuki nga bamulambuza embuga y’essaza ly’e Kyaggwe.

Oluvannyuma, bano batudde mu kifo omutuula enkiiko omukolo gw’okuwaayo woofiisi n’okukyuka obukulembeze ne gugenda mu maaso.

Ssekiboobo Boogere alambuludde akawonvu n’akagga ak’ebyo by’asobodde okukola n’abaweereza banne okuli n’ab’amagombolola nga wano w’ategeerezza nga bw’eriyo amagombolola n’okutuuka olwa leero agakyagaanye okuteekawo ppulojekiti mwe galina okujja ensimbi ezigayimirizaawo n’okukozesa ettaka ly’embuga ng’ono y’omu ku kaweefube eyateekebwawo okukuuma ettaka ly’embuga z’amagombolola ku babbi b’ettaka abeesomye okulimalawo.

Ono asibiridde amuddidde mu bigere entanda nti asaanidde okwagala abantu ba Kabaka n’okulaba ng’abagatta ng’ekyo bw’anaakikola buli kimu kyakusobola okumugondera obuweereza bwe busobole okubeera obw’omuyiika naye yeewuunye.

“Naffe weetuli wadde tuwummudde, tuli beeteefuteefu okuwa amagezi wano na wali ssinga tunaaba tusabiddwa nga wabaddewo obwetaavu. Wadde tuwummudde obuweereza, tusigedde tukyali Bannakyaggwe,” bw’agambye.

Ye Ssekiboobo omuggya, Vincent Matovu ng’ali n’abamyukabe asooka, Moses Kyeyune Kiyimba n’ow’okubiri Fred Katende beeyanzizza obwami era Minisita Kawuki abakwasizza amabaluwa agabakakasa mu woofiisi.

Ssekiboobo ng’alambula essomero lya Ssekiboobo P/S erisangibwa ku mbuga y’essaza ly’e Kyaggwe mu Ggulu e Mukono.
Ssekiboobo ng’awa alipoota ye esiibula oluvannyuma lwa Kabaka okusiima n’amuwummuza. Ku ddyo ye Ssekiboobo omuggya vincent Matovu ne Minisita Kawuki wakati.

Ng’ayogera, Minisita Kawuki asiimye Ssekiboobo awummudde olw’obuweereza eri Obwakabaka n’asaba amuddidde mu bigere okumweyambisa we kinaabanga kyetaagisizza.

Kawuki atumye omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Lugazi Stephen Sserubula okutwala mu palamenti ekiteeso ekibanja federo n’agamba nti mu palamenti gye yalaalira.

“Ggwe njagala otwale ekiteeso waakiri kigende mu byafaayo nti ekiteeso kyatuuka mu palamenti, kiwagirwe oba bakisuule naye nga kituuse. Abantu ba Buganda n’ebweru waayo kyeraga lwatu nti federo bagyagala, kati waakiri kinaagenda ku likodi nti ababaka baagaana okuwagira federo ate abantu gye baagala, olwo bbo abagaana bagasimbagane n’abalonzi baabwe. Ate nno lwa butamanya, ogwo omulimu ssinga ogukola, sirowooza nti abantu b’e Lugazi bayinza obutakuzza mu palamenti ng’otuusa eddoboozi lyabwe mu palamenti,” bw’alambise.

Ng’akabonero akasiima Ssekiboobo awummudde, Ssaabasajja Kabaka asazeewo emmotoka gy’abadde avuga ey’Obwakabaka agitwalire ddala ebeere ettu erimuweereddwa okumusiima olw’obuweereza obulungi era Minisita Kawuki amukwasizza ekisumuluzo kyayo wadde ng’abadde yakiwaddeyo ng’awaayo woofiisi.

Omubaka Sserubula yeeyambye ng’omulimu ogumutikkiddwa Minisita Kawuki bw’agenda okugukola n’omutima gumu. Sserubula agambye nti agenda kuyita mu babaka banne balabe ng’olubimbi luno oluva e Mbuga balulima bulungi federo bagituuse mu palamenti.

Ono era ayozaayozezza Ssekiboobo omuggya n’abamyukabe n’okusiima awummudde n’abamyukabe n’agamba nti mwetegefu okuweereza ne Ssekiboobo omuggya n’abakulembeze abalala mu ssaza okulaba nga baddamu okutuuka ku ntikko.

Ssekiboobo Matovu ng’afuna ssitampu y’essaza okuva ewa Minisita Kawuki, ku kkono ye muwummuze, Boogere.
Minisita Kawuki ng’akwasa omumyuka wa Ssekiboobo asooka, Moses Ssenyonjo ebbaluwa emukakasa mu kifo ekyo.

Minisita Kawuki mu kifaananyi ekya wamu n’abakulembeze b’essaza ly’e Kyaggwe.
Minisita Kawuki ng’alambula essomero lya Ssekiboobo P/S erisangibwa ku mbuga y’essaza ly’e Kyaggwe mu Ggulu e Mukono.
Ssekiboobo Matovu ng’ayogera, ku kkono ye Ssekiboobo Boogere awummudde ne Minisita Kawuki wakati.
Minisita n’abakulembeze e Kyaggwe mu kifaananyi ekya wamu.

 

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/kabaka-asiimye-ssekiboobo-boogere-namuwa-emmotoka-ngekirabo-olwobuweereza-obulungi/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=kabaka-asiimye-ssekiboobo-boogere-namuwa-emmotoka-ngekirabo-olwobuweereza-obulungi

Leave A Reply

Your email address will not be published.