| KYAGGWE TV | MUBENDE | Abakozi ku ssundiro ly’amafuta baaguddemu ekikangabwa mukama waabwe bwe yavudde mu buntu n’akwata emmundu ne yeekuba essasi eryamuttiddewo.
Entiisa eno yagudde ku ssundiro ly’amafuta li Oil Energy ku kyalo Kisekende mu disitulikiti y’e Mubende, Allan Okello bwe yeekubye essasi mu mutwe n’afiirawo.
Okusinziira ku bakozi banne, baategeezezza nti Okello okwejja mu bulamu bw’ensi eno obuwoomera abangi kyavudde ku bbanja lya bukadde bwa nsimbi buna eribadde limutadde ku bunkenke n’asalawo afe afune ku buweerero.
Ssentebe w’ekitundu kino, Gift Ssemwogerere yategeezezza nti abadde abiwulira mu ngambo nti omugenzi yakola loosi ku mulimu nga abaddenga mu bweraliikirivu.
Bino byabaddewo kawungeezi ka Mmande era omulambo gwatwaliddwa ku ddwaliro ly’e Mubende nga ne Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza ku ttemu lino.
Related
https://kyaggwetv.com/kitalo-akulira-essudiro-lyamafuta-yeekubye-essasi-erimuttiddewo/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=kitalo-akulira-essudiro-lyamafuta-yeekubye-essasi-erimuttiddewo