Ssenkaggale w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine akozesezza obuyinza bwe obumuweebwa ekibiina n’afumuula omumyukawe atwala Buganda, Mathias Mpuuga.
Kyagulanyi agamba nti Mpuuga yeenyigira mu bulyake ne yezza ensimbi obukadde 500 ezamuweebwa ng’akasiimo okuva mu palamenti ekimenya amateeka sso nga n’ekibiina bwe kyavaayo ne kimulagira azzeeyo ensimbi ezo alekulire n’ekifo ky’obwa kkamisona byonna yabizimuula.
Kaweefube w’ekibiina okuwandiikira palamenti okuyita mu ssaabawandiisi waakyo, David Lewis Lubongoya yagwa butaka, omukubiriza wa palamenti, Annet Anita Among bwe yategeezezza nga kino bwe kitasoboka ng’agamba nti ekibiina kye kyabadde kisaba tekyabadde mu buyinza bwakyo.
Bwe yabadde akyaddeko mu Bulange e Mengo ng’ali ng’ali ne Lubongoya n’ababaka ba palamenti aba NUP, akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Joel Ssenyonyi, ng’agenze okugula emigyozi gy’emisinde gya Kabaka’s birthday run, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yamusabye bave mu ntalo n’okwerumaaluma wabula balowooze ku kusonyiwagana n’okukola ebyo ebinaabayamba okutwala ekibiina kyabwe mu maaso.
Mpuuga yasooka kusuulibwa Kyagulanyi okuva ku kifo ky’obwa Leader of Opposition mu palamenti n’amusikiza Ssenyonyi nga kati n’ekifo ky’abadde asigazze ng’omumyuka wa Pulezindeti atwala Buganda nakyo akimusuuzizza.
Related
Let others know by sharing