Trusted News Portal

MP Ssimbwa Ab’e Nakifuma Bamutaddeko Akazito Ku By’ekiteeso ekigoba Mpuuga ne Banne

1

Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) e Mukono bongedde okuteeka akazito ku babaka ababakiikirira mu palamenti nga bano babakaka okugondera ekibiina n’omukulembeze waakyo Robert Kyagulanyi Ssentamu ssaako akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi abaabalagira okuteeka emikono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu bakamisona ba palamenti abagambibwa okwegabira omusumbi ogw’akasiimo, ekyavvuunulwa ng’okulya enguzi.

Wiiki ewedde bano nga bakulembeddwa ssaabawandiisi w’ekibiina e Mukono, Richard Lugoloobi Kasiriivu baavuddeyo ne batuuza olukiiko lw’ab’amamulire ku kitebe ky’ekibiina e Mukono ne balaga obutali bumativu olw’ababaka ba NUP abava mu disitulikiti y’e Mukono ne Greater Mukono okutwalira awamu omuli abava mu disitulikiti y’e Kayunga, Buikwe ne Buvuma ababadde beesuuliddeyo ogwa nnaggamba okukola nga Principal Kyagulanyi bwe yabalagira okuteeka omukono ku kiteeso ekigoba Mathias Mpuuga kamisona wa palamenti ne bakamisona abalala abasatu abava mu kibiina kya NRM.

Bano we baviiriddeyo ku nsonga eno, ng’ababaka okuli Hanifa Nabukeera omukyala owa disitulikiti y’e Mukono ne Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni, omubaka wa Mukono North, nga be bokka abakavaayo okuteeka omukono ku kiwandiiko ekigoba Mpuuga ne bakkamisona abalala abasatu aba NRM.

Wabula akazito kano kaanyize omubaka Betty Nambooze Bakireke owa munisipaali y’e Mukono bwatyo nagonda n’anoonya omubaka Theodore Ssekikubo akulembeddemu ensonga eno era ku Lwokutaano, Nambooze yatadde omukono ku kiteeso kino.

Nambooze yategeezezza nti abadde amaze akaseera ng’anoonya Ssekikubo okuteeka omukono ku kiteeso kino nga tamulaba. Mu ngeri y’emu, ono yeetemye engalike bwe yagambye nti abadde atwala budde nga bwe yeetegereza ensonga n’okwebuuza ku balonzi nga yeewala okukola ekyakolebwa omubaka Veronica Nanyondo eyavaayo n’asaba omukono gwe yateeka ku kiwandiiko guggyibweko kuba yakwatibwa obujega n’atakikola nga yeeyagalidde.

Ku Lwomukaaga, abatuuze era banna NUP abava mu konsituwensi y’e Nakifuma baavuddeyo nga bakulembeddwa Suleiman Kiwanuka ne bateekawo essaawa 48 eri omubaka waabwe, Fred Ssimbwa Kaggwa okwanguwa okuteeka omukono ku kiwandiiko nga Principal Kyagulanyi bwe yalagira nga kino bwe kinagaana baakumulinda mu kiseera ekituufu amanye akabafaamu.

Kiwanuka yategeezezza nti ekigendererwa ky’okugoba ba kkamisona okuli Mpuuga ne banne kwe kulaba nga balwanyisa enguzi nga Ssimbwa okugaana okuteeka omukono ku kiteeso ekibagoba aba ng’alaga nti agiwagira.

“Tetulina lukusa luvaayo ku babaka balala bakyagye ku nsonga eno nga n’owaffe gwe tuvunaanyizibwako naye y’omu ku bbo. Omubaka Ssimbwa bw’aba takkiriziganya na Kyagulanyi pulezidenti waffe ne Ssenyonyi akulira oludda oluvuganya gavunenti mu palamenti, olwo anaawulira Museveni by’alagira? Emirundi mingi ababaka baffe beetadde ku mudaala okugulibwa Museveni, kyandiba nga y’ensonga egaana n’owaffe okuteeka omukono ku kiteeso ekigoba be tulana ng’abali b’enguzi,” Kiwanuka bw’alambuludde.

Ono era alaze okunyolwa olwa konsituwensi y’e Nakifuma obutabeeramu woofiisi ya NUP nga n’emirundi gye yakiwomamu omutwe abaddenga alemesebwa. Asabye abakulu mu kibiina okumuwa olukusa afunire ekibiina woofiisi kuba okubulawo kwayo kuzingamizza enteekateeka z’ekibiina omuli n’okuwandiisa bammemba abapya.

Bammemba bano nga batudde ku woofiisi za NUP e Mukono ku Lwomukaaga basinzidde wano ne balaga obwenyamivu ku ngeri palamenti gye yakwatamu ensimbi y’omuwi w’omusolo ssaako okulabula ababaka baabwe abeenyigira mu bikolwa eby’okweyongeza omusimbi ne batalowooza ku bannansi.

Bano era bagamba nti emirimu mu konsituwensi tegitambula bulungi, ng’enguudo mbi, abasawo mu malwaliro tebaliiyo n’eddagala teririiyo.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/mp-ssimbwa-abe-nakifuma-bamutaddeko-akazito-ku-byekiteeso-ekigoba-mpuuga-ne-banne/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=mp-ssimbwa-abe-nakifuma-bamutaddeko-akazito-ku-byekiteeso-ekigoba-mpuuga-ne-banne

1 Comment
  1. acheteriptvabonnement says

    Thank you for the good writeup It in fact was a amusement account it Look advanced to far added agreeable from you However how could we communicate

Leave A Reply

Your email address will not be published.