Trusted News Portal

Mu Kifo Ky’okubinika Abasuubuzi Omusolo Omungi, N’ente Muzisolozeeko Omusolo-Speaker Among

0

Sipiika wa palamenti, Anita Annet Among avudde mu mbeera n’atabukira ab’ekitongole ekiwooza ky’omusolo ne gavumenti okutwalira awamu olw’okubinika abasuubuzi omusolo omunene ogubatuuse ne mu bulago nga ne bwe bavaayo ne balaajana tebakkiriza kubawuliriza.

Among w’aviiriddeyo ng’abasuubuzi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga bakulemberwamu bannaabwe ab’e Kampala bagenda mu wiiki nnamba nga baggadde amaduuka tebakyakola mu ngeri ey’okwekalakaasa n’okusimbira omusolo gwe bagamba ogubali mu bulago ng’ate gavumenti buli lukya eyongera kugattako mulala.

Bano omusolo ogwasinze okubajja mu mbeera gwe gumanyiddwa nga EFRIS URA gw’egamba nti guno si musolo mupya ng’abasuubuzi bwe bagamba wabula nkola ya tekinologiya eyisibwamu okusolooza omusolo ogumanyiddwa nga VAT nga guno gubaddewo nga bagusolooza ebbanga lyonna.

“Naye ente bazisoloozaako omusolo? Kale ziyinza okuba zigwa mu ttuluba eritasoloozebwako musolo naye mu kweefube gavumenti gw’eyogerako ow’okugaziya ebintu by’esolozaako omusolo, kye kiseera n’ente nazo abalunzi baazo batandike okuziweeranga omusolo,” Sipiika Among bw’ategeezezza.

Agasseeko nti: “Nze nnina ente nga 2000 naye teri ansaba musolo. Teri n’ayagala kumanya nzifunamu ntya. Nsaba tulowooze ku ky’okuweesa ente omusolo okusinga okunyigiriza abasuubuzi ennyo bwe tuti kutuuka kubagoba mu bbizinensi. Abantu balina ente nnyingi.”

Sipiika wa palamenti w’aviiriddeyo ng’abakulembeze b’abasuubuzi baagenze mu maka ga Mukulembeze wa ggwanga mu State House Entebbe okusisinkana Pulezidenti Museveni gwe baludde nga bagaaga okusisinkana bamutunuze mu buzibu bwe balimu obutuuse okubagoba mu bbizinensi bangi ku bannaabwe ne badda mu byalo nga kati bakuba misota ku byalo.

Abasuubizi baagala omusolo gwa EFRIS gusigale kusasulirwa mu makolero gye bagula eby’amaguzi nga bwe gubadde. Okusinziira ku ssentebe w’ekibiina ekitaba abasuubuzi mu ggwanga, ekya KACITA, Thaddeus Musoke Nagenda agamba nti kiba kikyamu okusasula omusolo gwa EFRIS emirundi ebiri mu ffakitole gye bagula eby’amaguzi ate nabo ne bagusasula nga batunze eby’amaguzi mu maduuka gaabwe.

Mu kiseera kino, ebigenze mu maaso mu lukiiko wakati wa Pulezidenti Museveni n’abasuubuzi tebinnavaayo.

Obubaka bwa Sipiika Among mu Luzungu “Are cows taxed?  Yes, it’s an informal sector but when we talk about widening the tax base then go for the cows. I have over 2,000 cows but nobody charges me tax. Nobody even wants to know how much I get out of it. Let’s widen the tax base instead of making the traders suffer. People have so many cows.”

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/mu-kifo-kyokubinika-abasuubuzi-omusolo-omungi-nente-muzisolozeeko-omusolo-speaker-among/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=mu-kifo-kyokubinika-abasuubuzi-omusolo-omungi-nente-muzisolozeeko-omusolo-speaker-among

Leave A Reply

Your email address will not be published.