Bwe tumukubidde essimu okumubuuza ku nsonga eno, Muyanja ategeezezza nti ensonga zaawedde dda okusosootolwa nti “kiwedde okumwa, embalabe z’ezisigadde!” era nti ssaawa yonna waakwanirizibwa e Kavule ku kitebe ky’ekibiina kya NUP.
| MUKONO | KYAGGWE TV | Ng’akalulu ka 2026 kakyali mu kkoona, bannabyabufuzi ku mitendera egy’enjawulo bali mu kutambula sserebu nga banoonya butya bwe bagenda okudda mu balonzi okubasaba obululu obunaabayamba okwewangulira ebifo eby’enjawulo omuli n’abaagala obubaka bwa palamenti.
Nga n’abaliyo mu bifo bino tebatudde, kyokka n’abaagwa ssaako abapya ababyegwanyiza nabo obwagazi buli lukya bwongera okubalinnya ku mitwe.
Mu bano mwe muli eyali omubaka wa palamenti owa Mukono South, Johnson Muyanja Ssenyonga ng’ennaku zino abantu aboogeza obwama. Abamu batambuza ebigambo nga bw’agenda okwesimbawo ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa Mukono munisipaali ekirimu omubaka Betty Nambooze Bakireke ku kkaadi ya NRM era mbu ono abaddenga atambula mu nkukutu nga bw’asaba akalulu nga ne Nambooze yennyini takyategeera bigenda mu maaso.
Wabula we twogerera, ng’amawulire gamaze okufuluma nga Muyanja bw’amaze okusala eddiiro nti kkaadi ya NRM gye yavuganyizaako mu kulonda okuwedde mu 2021 ku kifo ky’obubaka bwa palamenti obwa Mukono South amale awangulwe munna DP Fred Kayondo eyamukunkumula omukono mu kibya, mbu kkaadi kya kyenvu omukulu agisuddewo talina gafa na ki bbaasi kivundu ayolekedde NUP, era kati atambula obuyimba ayimba buwaana ppulinsipo, Robert Kyagulanyi Ssentamu ow’e Magere mu Ntebe.
Bwe tumukubidde essimu okumubuuza ku nsonga eno, Muyanja ategeezezza nti ensonga zaawedde dda okusosootolwa nti “kiwedde okumwa, embalabe z’ezisigadde!” era nti ssaawa yonna waakwanirizibwa e Kavule ku kitebe ky’ekibiina kya NUP ayanjulirwe ekibiina mu butongole bamwambulemu emijoozi gya kyenvu n’amasuuti babiteeke mu bikutiya olwo bamuwe kkaadi y’ekibiina, emigyozi n’ebirala ebigenderako.
Kigambibwa nti ekisazisizza Muyanja eddiiro kwe kuddayo okulwanirira ekifo kye eky’obubaka bwa palamenti obwa Mukono South okulaba ng’akozesa kkaadi ya NUP okubukwakkula ku Kayondo addemu okukiikirira ab’eno mu palamenti.
Mu 2021, NUP mu kalulu ka Mukono South yakiikirirwa Wilson Male eyawangulwa Kayondo n’amala n’addukira mu kkooti ng’avunaana Kayondo ensonga ez’enjawulo omuli okubba obululu, okugulirira abalonzi n’okukozesa obubonero bw’ekibiina kya NUP wadde ng’ate ye munna DP ekimenya amateeka g’eby’okulonda.
Wabula omusango gw’ono kkooti yakugoba n’atuuka n’okujulira naye era ne kkooti ejulirwamu nayo n’ekakasa Kayondo ng’omubaka wa Mukono South mu bujjuvu. Omusango okugobwa mu kkooti ejulirwamu kwaliwo mu April wa 2023.
Olw’okuba Male yalabibwa ng’omunafu ekyamuviirako n’okusuula obuwanguzi bw’ekibiina wadde nga mu bifo bya palamenti ebisigadde byonna mu kulonda okwo NUP e Mukono yabiwangula, ng’eno y’eyinza okuba ensonga ereetedde Muyanja amabbabbanyi n’alowooza nti ssinga anaasala eddiiro ne yeegatta ku NUP, kyakumubeerera kyangu abakulu okumwesigisa kkaadi mu mbeera ya gwe waalabyeko ye mwana ng’oba oly’awo anaasobola okufufuggaza Kayondo abadde mu kifo kino kati guno mwaka gwakusatu okuva lwe yakunkumula Muyanja kennyini omukono mu kibya.
Ekitannamanyika kiri kimu, oba abakulu e Kavule ku kitebe kya NUP Muyanja kkaadi banaagiwa buwi Muyanja avuganye oba banaategeka akamyufu k’ekibiina abalonzi ne beesalirawo ku ye ne Male oba n’abalala abanaaba bavuddeyo ani gwe banaagenda naye.
Muyanja okugenda mu Mukono South nga n’ekibiina kya NRM ekibadde kimwesibyeko avuganye mu Mukono munisipaali ne Nambooze ku kkaadi yaakyo kireka Nambooze ng’afunye ku buweerero ng’agamba nti waakiri ekyo ekikonge akiwonye, k’alinde ate abbinkane n’ebirala ebimutuulidde mu kkubo lye.
Wabula olwo terunnaggwa, ne munnamateeka wa NUP, George Musisi yalumbye dda ekifo kye kimu ekya Mukono munisipaali ng’ayagala kusiguukulula Nambooze gw’agamba nti ye yava ne ku bya situlago ekibiina gye kiriko okuggya gavumenti ya NRM mu buyinza, situlago alina emu ya kwekuumira mu buyinza ng’omubaka wa munisipaali y’e Mukono mbu alinze kufuga kutuuka kumukululira ku kaliba, oba kutuuka bantu kuwulira bubi!
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/muyanja-sseyonga-e-mukono-asuddewo-nrm-addukidde-mu-nup/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=muyanja-sseyonga-e-mukono-asuddewo-nrm-addukidde-mu-nup