Trusted News Portal

Naye Ddala Ani Akkiriza Abantu Okuzimba mu Ntobazzi? Omubaka Naluyima Bimusobedde!!!

0
Omubaka Naluyima (ow’okubiri ku kkono) n’abamu ku bakulembeze be yatambudde nabo nga bali e Kaazi.

BYA TONNY EVANS NGABO

| Kaazi | KYAGGWE TV | Mu kiseera ng’abantu mu bitundu by’e Nansana bakyakaaba omuli n’abamu ne gye buli kati abatannafuna we beegeka luba oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi omuli n’entobazzi mu ggwanga ekya NEMA okuvaayo ne kibamenyera amayumba n’ebintu byonna ebyali mu lutobazzi lw’omu Lubigi mu disitulikiti y’e Wakiso, omubaka omukyala akiikirira disitulikiti eno mu palamenti Betty Ethel Naluyima ng’ali n’abakulembeze abalala baguddewo ekigwo bwe batuuse e Kaazi ne basanga ng’ate eriyo abazimba wooteeri galikwoleka kumpi mu nnyanja naye nga teri abakuba ku mukono!

Naluyima agamba nti wandibeerawo ekkobaane okuleka abantu abanaku nga babonaabona ng’ekitongole kya NEMA kibamenyera amayumba gaabwe nga kyerimbise mu kutaasa entobazzi kyokka ate ng’oludda olulala bano bazibirizza amaaso ku bagagga abazimba mu ntobazzi ewatali wadde kibakolebwako.

Omubaka Naluyima ne banne bino baabituseeko bwe baabadde mu Munisipaali ya Makindye-Ssaabagabo ku kulambula ebifo eby’enjawulo eby’entobazzi kyokka ne basanga emivuyo egitagambika omuli n’abagagga abateeberezebwa okubeera nga baliko omukono gwa ‘ABOVE’ nga bali mu kuzimba wooteli ggaggadde mu kifo kino kumpi ekiri mu nnyanja kyokka ng’ate erina ebiwandiiko byonna ebigikkiriza okugenda mu maaso n’okuzimbibwa!

Wakati mu kusoberwa, omubaka Naluyima agambye nti mu kadde kano agenda okusisinkana abavunanyizibwa ku butonde bw’ensi mu disitulikiti y’e Wakiso basale entotto okulaba obuzibu wa we buva balyoke bafulumye alipoota ey’awamu eyogera ku bizuuliddwa.

Wabula ono era agambye nti kati asobeddwa kwani  eyogera ekituufu eri  abakulu mu kitongole kya NEMA n’aba disitulikiti y’e Wakiso kuba buli ludda lwegaana okukkiriza abantu abazimba mu ntobazi.

Ekifo ekiri mu kukulaakulanyizibwa bazimbemu wooteeri mu luto[bazzi e Kaazi.

Ettaka ly’e Kaazi okuzimbibwa wooteeri egambibwa okuba ng’ezimbibwa mu kifo kikyamu ekitongole kya NEMA ky’etakkiriza kuzimbamu limaze akaseera ng’abavunaanyizibwa ku kitongole ky’aba Scout balumiriza nti baalifuna mu bukyamu kuba lya ba Scout.

Mu kulambula ekifo kino, Omubaka Naluyima ne banne baasanzeeyo abamu ku bavunaanyizibwa ku kifo kino waddenga tebaayagadde kwatukirizibwa mannya. Bano baategezezza, nga bwe baagula yiika munaana okuva ku ba Scout ku buwumbi obusoba mu busatu nga muno mwe mwali n’ettundutundu ku lutobazzi okuliraana ennyanja lya yiika mukaaga basobole okukolerawo wooteeri kw’okomya amaaso.

Akulira eby’entobazzi mu disitulikiti y’e Wakiso, Esau Mpoza agambye nti ekisinga okumuluma kwe kuba ng’abantu abasangiddwa mu kifo kino tebaafuna kulungamizibwa kumala okuva mu bakugu abavunanyizibwa ku by’obutonde bw’ensi.

Bbo abamu kubakulembeze balala okubadde ssentebe wa Kajansi ttawuni kkanso, Kayondo Al-Bashir, naye ekizibu kino akitadde ku nguzi eyitiridde mu ggwanga ky’agamba nti y’evuddeko ebizibu bino byonna.

Ku Lwokusatu, abakulembeze bano baakubaganye empawa n’abakulira ekitongole kya NEMA kw’ani agaba olukusa eri aboonona entobazi nga buli ludda lulumiriza lunnaalwo okubeera emabega w’ekikolwa kino.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/naye-ddala-ani-akkiriza-abantu-okuzimba-mu-ntobazzi-omubaka-naluyima-bimusobedde/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=naye-ddala-ani-akkiriza-abantu-okuzimba-mu-ntobazzi-omubaka-naluyima-bimusobedde

Leave A Reply

Your email address will not be published.