Trusted News Portal

NEMA be Yasenda mu Lubigi Balidde Matereke N’abakulembeze Baabwe Lwa Mmere

0

| KYAGGWE TV |NANSANA-GANDA | Abamu ku bantu abaamenyerwa amayumba gaabwe mu kikwekweto kya NEMA mu Lubigi batabuse n’abakulembeze baabwe ng’entabwe eva ku mmere bano gye babadde babatwalidde okubaduukirira mu mbeera gye balimu.

Bano ababadde abakaawu ng’omususa baayambalidde abakulembeze baabwe nga bakulembeddwamu kkansala w’ekitundu kino Abu Batuusa awamu n’abakulembeze abalala ng’obuzibu bwavudde ku buyambi bw’emmere bano bwe baagambye nti yabadde ntono nnyo nga terina ky’eyinza kubayamba.

Ku kyalo Gganda ku mutala Nassere, ebikwekweto bya NEMA we byatandikira olwo ne byeyongerayo okutuukiira ddala e Nabweru abangi gye baabirabidde.

Kkansala Abu Batuusa ng’akwasa abantu akawunga.

Embeera y’abantu bano gye bawangaliramu teyawukuna kw’eyo abantu abalala abaakosebwa ekikwekweto kino gye bayitamu nga wadde ng’amaaso g’abasinga gatunuuliziddwa abo abali okumpi n’oluguudo oluva e Hoima okudda e Kampala.

Olunaku lw’eggulo ku Mmande, kaabuze kata abakulembeze mu Ganda abantu bano okubalya obunyama nga bagamba nti bano bbo tebabafuddeeko wadde nga nabo embeera gye balimu mbi nnyo.

Abantu bano bagamba abakulembeze baabwe okuva lwe baamenyerwa ebintu byabwe tebabalangako kyokka nga tebaggwa ku mikolo.

Abamu ku batuuze n’akawunga akaabaweereddwa.

Ekirala kye bavunaana abakulembeze baabwe bwe butabasakira nga kati n’eky’okulya bawamma kiwamme.

Wabula bo abamu ku batuuze bano baavumiridde ebikolwa bya bannaabwe okutabiikiriza eby’obufuzi mu buyambi obwabadde bubatwaliddwa abantu ab’enjawulo.

Bano era beebazizza abazirakisa abeesowoddeyo okubaddukirira n’obuyambi obutali bumu wabula ne bennyamira olw’omukulembeze w’eggwanga, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okubatunuulira ekya muli jjuuzi bwe yali agenda e Masuliita ku mazalibwa ga mukyalawe.

Ye kkansala w’ekitundu kino Abu Batuusa yasabye abantu abaakosebwa mu bikwekweto bya NEMA okwewala okuteeka eby’obufuzi mu nsonga z’okubadduukirira n’okubanoonyeza obuyambi.

Ye omumbejja Harriet Kayaga eyagemulidde abantu bano ettu lya kkiro z’obuwunga 2000 yennyamidde olw’embeera bano gye bawangaaliramu mu kiseera kino n’asaba abazirakisa okwongera okubadduukirira.

Abantu abasoba mu mu 500 be baawereddwa obuwunga okufuna waakiri eky’okulya nga bwe bayiiya ekiddako.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/nema-be-yasenda-mu-lubigi-balidde-matereke-nabakulembeze-baabwe-lwa-mmere/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=nema-be-yasenda-mu-lubigi-balidde-matereke-nabakulembeze-baabwe-lwa-mmere

Leave A Reply

Your email address will not be published.