Trusted News Portal

Nja Kukomawo ku Butaka Mu Bbanga Eritali Ddene-Kabaka Ayogeddeko Eri Obuganda

0

Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayogeddeko eri Obuganda mu ddoboozi ery’omwanguka era eriggumidde.

Beene ng’asinzidde Namibia gye yatwalibwa okuwummulako n’okujjanjabibwa agambye nti embeera y’obulamu bwe egenda etereera era asuubira okudda ku butaka mu bbanga eritali lya wala.

Yeebazizza Obuganda olw’essaala zonna ezimuweerezebwa n’obutaggwamu ssuubi wakati mu kusomoozebwa okwamaanyi.
#BugandaUpdates2024

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/nja-kukomawo-ku-butaka-mu-bbanga-eritali-ddene-kabaka-ayogeddeko-eri-obuganda/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=nja-kukomawo-ku-butaka-mu-bbanga-eritali-ddene-kabaka-ayogeddeko-eri-obuganda

Leave A Reply

Your email address will not be published.