Trusted News Portal

Nuliat Nakangu Kyazze Awangudde Empaka Z’obwannulungi ez’essaza Ly’e Kyaggwe

0
Nuliat Nakangu Kyazze, Nnalulungi w’eby’obulambuzi ow’essaza ly’e Kyaggwe 2024.
Nuliat Nakangu Kyazze, Nnalulungi w’eby’obulambuzi ow’essaza ly’e Kyaggwe 2024.

Empaka z’obwannalulungi ezimaze ebbanga nga ziyindira mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaggwe kya ddaaki zikomekkerezeddwa. Abawala ababalagavu 10 be batuuse ku z’akamalirizo ku mukolo oguyindidde ku Bredo Hotel mu kibuga Mukono. 

Omumyuka wa Ssekiboobo nnamba bbiri omugole ekyaliko n’omuzigo, Fred Katende y’abadde omugenyi omukulu ku mpaka zino ng’abasazi baazo bayokyezza abavuganyizza ebibuuzo ku nsonga ez’enjawulo ku byafaayo bya Buganda n’ebyo bye boolesezza.

Baana bawala bano teboolesezza bulungi bwokka ng’abasinga bwe balowooza wabula boolesezza n’ebitone eby’enjawulo omuli amazina ag’ekinnansi, okulaga obukugu mu kulanya, okwolesa emisono egy’enjawulo ne kalonda omulala mungi.

Patrick Ssekabembe, akulira eby’ennono n’obulambunzi mu ssaza ly’e Kyaggwe yeebazizza nnyo abazadde abaabeesigisa abaana baabwe ab’obuwala okwetaba mu mpaka zino n’agamba nti musanyufu nti bano empaka we zifundiikiriddwa nga baliko bingi bye bayize ekibafudde ab’enjawulo abagenda okuganyulwa mu mikisa enjolo egibalagiddwa ebbanga lye bamaze mu nteekateeka eno.

Abamu ku baavuganyizza.

Omutaka Christopher Kaddu Namutwe akubirizza abawala okubeera abasaale mu kukuuma empisa n’obuwangwa bwa nnyaffe Buganda bave mu by’okukoppereza empisa n’obuwangwa bw’abagwira obubaleka nga ba kibogwe tebaliiko musingi kwe bayimiridde.

Bannalulungi abasukkulumye ku bannaabwe babakwasizza satifikeeti okuva mu Ssaza n’ebirabo okuva mu Sun City Paints nga bano be babadde abavujjirizi abakulu ab’empaka zino. Ye omuwanguzi alangiriddwa nga ye Nuriat Nakangu Kyazze ng’addiriddwa Jessica Namayanja mu ky’okubiri ne Gloria Nassaazi n’akwata eky’okusatu.

Nnalulungi w’eby’obulambuzi ow’essaza ly’e Kyaggwe 2024 Nakangu ayambaziddwa engule ye era omumyuka wa Ssekiboobo Fred Katende n’amukwasa  ekirabo kya TV.

Katende asibiridde Nakangu ne banne abasatu bwe bagenda okukiikirira essaza ly’e Kyaggwe mu mpaka z’obwannalulungi bw’Obwakabaka bwa Buganda okubeera abavumu, abayiiya era abamalirivu nga bino byakubayamba okumegga bannaabwe ku mutendera gwe bagenzeeko ogwa Buganda yonna emmotoka gye bagenda okubbinkanira basobole okugireeta e Kyaggwe.

See also  Museveni Urges Ugandans: Create Wealth Through Commercial Farming

Junior Lubowa, nga ye kituuzi wa Sun City Paints ku lw’ekitongole naye atongozza Nnalulungi Nakangu nga ambasada wa kkampuni yaabwe ng’era ono amukwasizza ceeke ya kakadde ka nsimbi kalamba. Asuubizza n’okutwala abawangudde empaka zino mu Hotel African e Kampala balye ekyeggulo n’okusulayo ekiro kimu.

Ye Nnalulungi w’eby’obulambuzi ow’essaza ly’e Kyaggwe 2024 Nuliat Nakangu Kyazze asuubizza okukolagana n’ekitongole  ky’eby’obulambuzi ku ssaza okutumbula project ye eya Back to my Roots nga atunuulidde nnyo abavubuka abava ku nnono n’eby’obuwangwa ng’agenda kuyita mu magombolola wansi eyo.

 

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/nuliat-nakangu-kyazze-awangudde-empaka-zobwannulungi-ezessaza-lye-kyaggwe/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=nuliat-nakangu-kyazze-awangudde-empaka-zobwannulungi-ezessaza-lye-kyaggwe

Author

Leave A Reply

Your email address will not be published.