Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza enteekateeka y’okukuza amatikkira ga Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 31.
Omumyuka asooka owa Katikkiro Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ayanjudde olukiiko olugenda okuteekateeka okujjukira Amatikkira ga Kabaka ag’omwaka guno nga 31/07/2024.
Ategeezezza nti omulundi guno okujjukira Amatikkira we kutuukidde nga waliwo okusoomozebwa olw’obukosefu bwa Kabaka wabula waliwo bingi ebituukiddwako mu Buganda olw’okulembeze bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okuva lwe yazza eŋŋoma nga 31/07/1993.
Bwatyo ayanjudde omulamwa Amatikkira kwe gagenda kutambulizibwa oguli nti “Obumu bwaffe, ge maanyi ga Nnamulondo”
Olukiiko olugenda okuteekateeka nga lukulemberwa Oweek. Anthony Wamala Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Eby’okwerinda nga waakumyukibwa Oweek. Israel Kazibwe Kitooke Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka.
Alambuludde nti amatikkira ag’omulundi guno gajja kubeeramu okusabira Ssaabasajja Kabaka mu masinzizo ag’enjawulo era ng’okusaba okw’okuntikko kujja kubeerawo nga 31/07/2024 mu Lutikko e Namirembe.
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/obwakabaka-bufulumizza-enteekateeka-yamatikkira-ga-kabaka-aga-31/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=obwakabaka-bufulumizza-enteekateeka-yamatikkira-ga-kabaka-aga-31