Trusted News Portal

Obwakabaka Buvuddeyo ku Bulamu Bwa Kabaka-Ssi Mulwadde Muyi Era Tali ku Ndiri

0

Oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu ab’enjawulo babanja n’okuteeka ku nninga naddala Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda n’ab’olulyo Olulangira okuvaayo bategeeze Obuganda ebikwata ku bulamu bwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II nga bategeeza ng’obulamu bwe butali bulungi, kyaddaaki Obwakabaka buvuddeyo n’okulambika okwenkomeredde.

Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero, Katikkiro, Bamminisita e Mmengo, Omulangira David Kintu Wassajja n’akakiiko akafuzi ak’olukiiko lw’Abataka ab’obusolya basisinkanye ku mbuga enkulu eya Buganda mu Bulange e Mmengo ne bateesa ku nsonga ezikwata ku bulamu bwa Kabaka era ne babaako ensonga ze bakkaanyizza okutegeeza Obuganda.

Mu kiwandiiko kino, bategeezezza nga Kabaka bw’atali mulwadde muyi ng’amawulire bwe gaze gabungeesebwa naddala ku mukutu gi mugatta bantu (social media) nti era ali mu mikono gy’abasawo abakugu mu ggwanga lya Namibia.

Kitegeezeddwa nga bw’atannatuusa kukomawo kuno, ng’ekiseera ekituufu bwe kirituuka ng’okuwabula kw’abasawo bwe kulibeera, Omutanda alikomawo ku butaka Empewo za Bajjajjaabe ziddemu okumufuuwako.

Bano basiimye abantu ba Buganda abamazeeko ekiseera kino nga bakyali bakkakkamu wabula ne bavumirira abo abagufudde omugano okubungeesa ebigambo ebitaliiko mutwe na magulu n’okwagala okulingiriza omulamu bwa Ssaabasajja, ekitali kituufu.

Ekiwandiiko mu bujjuvu kigenda bwe kiti;

OBWAKABAKA BWA BUGANDA (KINGDOM OF BUGANDA)

WOOFISI YA KATIKKIRO OFFICE OF THE KATIKKIRO (PRIME MINISTER)

EKIWANDIIKO OKUVA MU NSISINKANO EY’ENJAWULO WAKATI WA KATIKKIRO, AB’OLULYO OLULANGIRA N’AKAKIIKO AKAFUZI AK’OLUKIIKO LW’ABATAKA AB’OBUSOLYA.

Olunaku olwa leero nga 18 Ssebaaseka 2024, wabaddewo ensisinkano ey’enjawulo mu Bulange e Mengo, wakati wa Katikkiro wa Buganda, Ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga ne Baminisita, Omulangira David Kintu Wassajja n’Akakiiko Akafuzi Ak’Olukiiko Lw’Abataka Ab’Obusolya. Ensisinkano eno ebadde ya nkizo era abagyetabyemu bakkaanyizza okuyisa ekiwandiiko kino okumanyisa abantu bonna ku nsonga enkulu ekwata ku Ssaabasajja Kabaka ensangi zino.

Mu myaka egiyise, Ssaabasajja abadde mukosefu era ne kitawaanya obulamu bwe ne kitaataganya emirimu gye.

Mu myaka egiyise, Ssaabasajja afunye obujjanjabi okuva mu basawo abakugu wano mu Uganda ne mu mawanga amalala ag’enjawulo.

Abasawo abakugu ab’e Bugirimaani be yagenda okulaba mu March 2024 baakiraba nti okufuna obuweerero obwa nnamaddala Ssaabasajja yalina okumala ekiseera ng’awummuddemu era nga kisaanidde yeewalire ddala emirimu kubanga emirimu emingi gye gimuleetera okukosebwa. Abakugu bano baalagirira Ssaabasajja bakugu bannaabwe abakolera emirimu gyaabwe e Namibia ne bamugamba nti walungi kubanga ayinza okuwummulirako eyo ate nga bw’afuna n’obujjanjjabi.

Ssaabasajja yasiima okuva e Bulaaya agende mu ggwanga ery’e Namibia era kinajjukirwa nti mu mwezi ogwa Kafuumulampawu, Katikkiro yategeeza Obuganda nti Ssaabasajja yaliko wabweru w’eggwanga nga afuna obujjanjabi. Ne wetwogerera kati Ssaabasajja akyali Namibia mu mikono gy’abakugu.

Kikulu nnyo era kisaana okukkaatiriza nti Ssaabasajja ssi mulwadde muyi era tali ku ndiri. Wabula yeetaaga ekiseera ekigere okwongera okuwummulamu ng’ali mu mikono gy’abasawo okusobola okussuukira ddala.

Nga bwe twongera essaala tukakasa nti kisaanidde Obuganda bumanye nti ensonga z’obulamu bwa Ssaabasajja zikolebwako bulungi era mu ngeri ey’ekikugu ddala.

Amawulire amatongole agakwata ku bulámu bwa Ssabasajja Kabaka gava wa Katikkiro. Tusaanye tujjukire nti Ssaabasajja ye Kitaffe, era okukira ku bantu abalala bonna, Ssaabasajja talingirizibwa. Amawulire agakwata ku bulamu bwe tegabeera ga kumukumu, era tegafulumizibwa mu ngeri eweebula kitiibwa kye nga Kabaka, oba n’okutyoboola eddembe lye ery’obuntu.

Katikkiro; Ab’Olulyo Olulangira; n’Abataka Ab’Obusolya baagala okwebaza abantu bonna aboolesezza empisa zaffe enganda ez’obugunjuffu, obugumiikiriza n’obukkakkamu mu kaseera kano. Era bakubiriza Obuganda okwewala ennyo abatambuza obulimba n’engambo nga banoonya okusiga obukyaayi, okweyawulayawula n’okunafuya Obuganda.

Ssaabasajja ajja kudda kuno ku butaka ng’obudde bwe obwokudda butuuse.

Awo nno, tubeere bagumiikiriza era tuwonge Ssaabasajja Kabaka mu mikono gya Katonda ayongere okumussuusa. Twongere okukuuma, okunyweza n’okwolesa obumu n’omwoyo gwa Buganda ogutafa!

Awangaale ayi Ssaabasajja Kabaka!

Bano be batadde emikono ku kiwandiiko kino;

Omutaka. Namwama Augustine Kizito Mutumba, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka

Omulangira David Kintu Wassajja ku Iw’Olulyo Olulangira

Charles Peter Mayiga, Katikkiro

18 JUNE, 2024

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/obwakabaka-buvuddeyo-ku-bulamu-bwa-kabaka-ssi-mulwadde-muyi-era-tali-ku-ndiri/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=obwakabaka-buvuddeyo-ku-bulamu-bwa-kabaka-ssi-mulwadde-muyi-era-tali-ku-ndiri

Leave A Reply

Your email address will not be published.