Olulimi Oluganda lusomeddwa mu Kkanisa ya St. Paul’s Cathedral e London ng’olulimi lwa Africa olusookedde ddala okuva ensi lwe yatandikawo.
Eggulo nga 2 Ssebaaseka (June) 2024, Ekkanisa eyo waggulu yategese okusaba okwabaddemu okusoma ekitundu mu lulimi Oluganda nga kiva mu Bakolinso eky’okubiri 4: 5-12.
Kyasomeddwa Omuky. Jennifer Muwonge muwala w’Omubuze Muwonge Samuel Wamala eyali Munnakibiina ky’Olulimi Oluganda.
Jennifer Muwonge obuweereza mu kkanisa eno yabutandika yaakagenda e Bungereza ng’akyasoma ku bwannakyewa, obuvunaanyizibwa bwatambuzza n’okutuusa kati. Mu kubuulira, olulimi Oluganda lwatenderezeddwa nnyo okuba nga lwe lumu ku nnimi ezaasobola okukyusibwa mu ekitabo ekitukuvu (Bible).
Essinzizo lino, lya byafaayo nnyo, okugeza;
Embaga ya King Charles III owa Bungereza ng’awasa Omuky. Diana Spencer mwe yali.
Mmisa y’okusabira eyali Katikkiro wa Bungereza mu biseera bya Ssematalo II, Sir Winston Churchhill nayo mwe yali.
*Source – Buganda Kingdom*
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/oluganda-lwongedde-okukola-ebyafaayo-mu-st-pauls-cathedral-e-london-basabye-luganda/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=oluganda-lwongedde-okukola-ebyafaayo-mu-st-pauls-cathedral-e-london-basabye-luganda