Bya Abu Batuusa
Ng’enteekateeka y’okukunga Bannayuganda okujjumbira n’okwetaba mu misingye gya Kabaka Birthday Run egenda mu maaso, omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima y’omu ku bavuddeyo okugiwagira.
Namuyima akiise embuga n’agula emigyozi abantu mwe banaddukira egiweredde ddala 300 nga gino agenda kugigabira abawagizi be mu disitulikiti y’e Wakiso nabo basobole okwetaba mu nteekateeka eno ewatali kutiiririra Ssaabasajja Kabaka.
Emisinde gino egyatongozebwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga nga February 27, 2024 gyakubeerawo ku Ssande nga April 7, 2024 mu Lubiri e Mengo. Emisinde gino giteekebwamu ensimbi aba kkampuni y’eby’empuriziganya eya Airtel.
Ku mulundi guno gyakubeera ku mulamwa ogugamba nti; “Abasajja be bannantameggwa mu kaweefube w’okulwanyisa obulwadde bwa Siriimu okusobola okutaasa omwana omuwala.”
Related
Let others know by sharing