Trusted News Portal

Poliisi Ekubye Amasasi Abadde Akulira Akabinja K’ababbi e Nansana

0

BYA ABU BATUUSA

Omusajja abadde amaze ebbanga nga y’akulira akabinja k’abazigu abasuza abatuuze mu bitundu by’e Nansana n’ebyalo ebirinanyeewo ku tebuukye olw’obubbi poliisi emukubye amasasi agamuttiddewo mu kikwekweto.

Attiddwa ategeerekeseeko lya Pius ng’ono kigambibwa nti ng’ali ne babbi banne babadde babba pikipiki n’okukuba ababodaboda obuyondo n’abamu ne babatta, babadde bamenya amaduuka n’amayumba ne babba n’okutuusa obulabe ku bantu.

Okusinziira ku poliisi, Pius abadde abagalidde omwambe omwogi abadde agezaako okutema omu ku basirikale ababadde mu kikwekweto olwo abalala kwe kumwesooka ne bamukuba amasasi n’afa.

Abatuuze oluwulidde nti Pius attiddwa, babitaddemu engatto ne bava ku bye babadde bakola okusobola okutuuka we bamuttidde okwelabirako oba nga ddala kituufu oba ababadde bamubika babadde mu lwali.

Kitegeerekese nti Pius abadde abeera ku kyalo Nasere e Gganda mu ggombolola ya Wakiso-Mumyuka mu munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Luke Owoyesigyire, omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga agambye nti ekikwekweto mwe battidde Pius era bakubiddemu abavubuka abalala babiri ababadde aboobulabe ennyo.

Owoyesigyire agambye nti ekikwekweto kikoleddwa poliisi ng’eri wamu n’ebitongole by’eby’okwerinda ebirala bwe bali ku ddimu ly’okukuuma Bannayuganda n’ebintu byabwe.

Abamu ku batuuze nga bakungaanye okwerabira ku Pius okukakasa oba ddala attiddwa.

Obubbi naddala obwa bodaboda mu Kampala n’emiriraano oyinza okugamba nti be baana baliwo mu kiseera kino oluvannyuma lw’okusitula enkundi nga bangi ku bavuzi ba bodaboda battiddwa ate abalala bali mu malwaliro banyiga biwundu sso nga pikipiki mpitirivu nazo zibbiddwa.

Kigambibwa nti eno y’embeera ewalirizza poliisi n’ebitongole ebirala eby’okwerinda ebirala okukola ekikwekweto mu bitundu okuli Entebbe-Express Highway, Mityana Road, Masaka Road ne mu bitundu by’amasekkati g’ekibuga okufuuza ababbi abasuza abantu ku tebuukye.

Omulambo gwa Pius gubaddeko ebiwundu bingi nga n’ebisosonkole by’amasasi ebiwerera ddala nga 13 bimwetolodde nga n’agamu gabadde gakutte ebisenge kyokka nga abadde akutte ejjambiya empya ng’eriko n’obwogi mu ngalo ssaako n’eccupa y’omwenge ng’emuli ku bbali awo.

Abatuuze ku kyalo Nasere ono w’abadde awangaalira bagamba abaddenga tatera kweraga mu bantu era abadde tanamala wadde myezi ebiri mu kitundu kino.

Ye nnannyini nnyumba ono kw’abadde apangisa agamba, naye abadde atandise okutankana entambula z’omupangisa ono kuba abaddenga afuluma mu kiro eranga adda mu kiro.

Bo abakulira aby’okwerinda ku kyalo Gganda nga bakulembeddwamu Christopher Muyimbwa, baanenyeza nnyo bannanyini mayumba abatafaayo kumanya bikwata ku bapangisa baabwe nga bafa kimu nsimbi.

Abapoliisi nga batwala omulambo gwa Pius.

Ye addumiira poliisi ye Nansana Apollo Tayebwa yasabye abatuuze okulonkomanga abamenyi b’amateeka kuba bawangaala nabo era babamanyi.

Tayebwa alabudde ne bannanyini mayumba abatawandiisa bapangisa baabwe nti bano bakuvunaanibwa nga amateeka bwe galambika.

Omulambo poliisi egugyewo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwogera okwekebejjebwa.

The post Poliisi Ekubye Amasasi Abadde Akulira Akabinja K’ababbi e Nansana appeared first on Kyaggwe TV.

Leave A Reply

Your email address will not be published.