BYA BRENDA NANZIRI
| MUKONO | KYAGGWE TV | Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu akungubagidde abawagizi ba ttiimu y’omupiira ey’essaza abaafiiridde mu kabenje akaagudde nga bava okuwagira ttiimu y’essaza ku mupiira gwe yasambye ku Ssande n’essaza ly’e Gomba.
Ssekiboobo ategeezezza nti abawagizi babiri be bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje kano ate abawera 16 ne balumizibwa bya nsusso.
Abagenzi bategeerekese nga Swaibu Ssemakula ng’ono abadde akulira ba bbaawunsa mu kibuga ky’e Mukono ne Richard Luboyera.
Obubaka obukubagiza Ssekiboobo abutuusizza eri eggwanga okuyita mu lukungaana lw’ab’amawulire lw’atuuzizza ku mbuga y’essaza ly’e Kyaggwe, mu Ggulu e Mukono.
“Ntuusa okusasiira eri abazadde b’abaana abafiiridde mu kabenje, n’ab’enganda n’emikano gyabwe, ate ne nnyongera okusaasira abo abaalumiziddwa nga bakyali ku bisango mu ddwaliro e Gombe. Tusaba Mukama Katonda abagumye ate abalwadde abassuuse,” Ssekiboobo bw’ategeezezza.
Ssekiboobo atuusizza okusiima kwe eri ab’eddwaliro ly’e Gombe abaawadde abantu obujjanjabi n’okutuusa olwaleero nga tebeeganyizza.
Ono ategeezezza nti abamu ku baalumiziddwa bakyali mu ddwaliro ly’e Gombe sso ng’abalala baabongeddeyo mu ddwaliro ekkulu e Mulago olw’embeera yaabwe embi okulaba nga boongera okufuna obujjanjabi obusingawo.
Akubirizza abateekateeka etambula ezitwala abawagizi ssaako abazannyi obutakozesa nnyo ttakisi naddala zi ‘drone’ wabula bwe kiba kisoboka bakozesenga zi bbaasi ky’agambye nti kiyinza okukendeeza ku mbeera z’obubenje ku nguudo obuzze bufiiramu abawagizi b’empaka z’amasaza buli mwaka.
“Tuyinza okufuna bbaasi oba ez’amasomero ate n’abazivuga ne tulaba nga bali mu mbeera nnungi ate nga tetubakkiriza kuvugisa kimama. Ng’essaza tuyinza obutavaayo nga nteekateeka ya wamu kutambuza bawagizi, wabula twagala okulaba nga tukolagana n’ababatambuza okulaba nga batuuka bulungi era ne bakomezebwawo nga tebafunye buzibu,” bw’ategeezezza.
Ssekiboob era asabye n’abantu okutambulanga n’ebiboogerako okusobola okubategeera amangu ssinga waba waguddewo obuzibu nga bwe gwabadde nga waguddewo akabenje kano.
Related
https://kyaggwetv.com/ssekiboobo-akungubagidde-abawagizi-ba-ttiimu-yessaza-abaafudde-nga-bava-e-gomba-ku-mupiira/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=ssekiboobo-akungubagidde-abawagizi-ba-ttiimu-yessaza-abaafudde-nga-bava-e-gomba-ku-mupiira