Trusted News Portal

Temukozesa Mitimbagano kuwebuula be Musoowaganye Nabo-Bp. Kagodo

0

Abakuliaitaayo mu bulabirizi bw’e Mukono bajjumbidde okusaba kw’okukuza amazuukira ga Yesu wadde ng’enkuba mu bitundu bino ekedde kutonnya ekiremesezza abamu okukeera okugenda mu kusaba.

Ku Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya, Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo y’akulembeddemu okusaba kuno.

Kagodo mu bubaka bwe akubye bannabyabufuzi akaama abagufudde omugano okukozesa emitimbagano naddala emikutu gi mugatta bantu okuyisaako obubaka obutyoboola bannaabwe n’okulwanirako entalo n’agamba nti kino si kituufu kuba ssinga ekiseera kituuka ne mutuuka ku kukkaanya, olwo ate obubaka obuba bwagenda edda buba tebukyasobola kuvaako.

Omulabirizi are asabye Abakulisitaayo okukozesa olunaku luno okwezza obuggya nga beebuulirira n’okudda eri Omukama basobole okuzuukira wamu naye.

Mu kusaba kuno, Bp. Kagodo ategeezezza nga bwe giweze emyaka ena bukyanga eyali Ssekiboobo w’essaza ly’e Kyaggwe, Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo afa ng’era wano w’asinzidde n’asabira ku ba ffamire ye abakulembeddwa nnamwandu, Sarah Kigongo.

Nnamwandu ategeezezza nti basazeewo okwebaza Katonda abakuumye ebbanga lino bukyanga Katonda ajjulula mwagalwa waabwe n’amusabira Katonda ayongere okumuwa ekiwummulo eky’emirembe.

Ye Dr. Isaac Kajja, omusawo omukugu akolera mu ddwaliro e Mulago era omusomesa mu Makerere University asomesezza ku bulwadde bwa Red Eye obusitudde enkundi mu kiseera kino n’asaba abantu okufuba okunaaba ennyo mu ngalo n’okuddamu okukozesa ssanitayiza.

Let others know by sharing

Leave A Reply

Your email address will not be published.