Trusted News Portal

Aba Bodaboda Beekokkola Obubbi Bwa Pikipiki Obucaase

0

Bya Abu Batuusa

Obubbi bwa pikipiki obutwaliramu okutta abazivuga obusaasaanidde ebitundu bya Kampala eby’enjawulo n’ebirinaanyeewo bwewanisizza abavuzi ba bodaboda emitima.

Bano bagamba nti bangi ku bannaabwe battiddwa ne pikiki zaabwe ne zobbibwa ng’ab’omukisa baakubibwa ne babalekako kikuba mukono nga mu kiseera kino banyiga biwundu.

Owa bodaboda eyasimattuka ababbi.

Mu bimu ku bitundu ebikyasinze okubeeramu obubbi bwa bodaboda ye munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Bano bagamba nti kati kifuuse kya lulango okuba nga buli lunaku eriyo pikipiki ebbibwa olwo nnyoniyo n’attibwa oba ne bamukuba oba okumutema ne bamuleka ng’ali Ku mugo gwa ntaana.

Omuvubuka Kasimu Ssekasamba y’omu Ku balojja ng’amba nti emagombe yasimbayo kitooke oluvannyuma lw’ababbi okumutema ejjambiya naye ng’eno abatuuze baasobola okukutaasa.

Omu babbi era abatemu abaali beesomye okumiza Ssekasamba omusu, abatuuze baamukwata naye ne bamukuba ku ssekalootera ne bamutta nga bino byalo Kigoma.

Ssekasamba ng’atemera mu gy’obukulu 25 ng’ono bodaboda agivugira ku ssiteegi  y’oku Masitoowa e Nansana ye yawona okukkirira ewa Walumbe e Ttanda.

Ono ebyamutuukako abinyunya nga lutabaalo; agamba nti abavubuka babiri baamupangisa okubatwalako naye bwe baatuuka mu kkubo ne bamwefuulira ne bamutema ejjambiya mu maaso olwo nadda mu kukuba sikyakyala olwo bbo ne badda ku pikipiki ye basamba beggyewo wadde nga Katonda yali akyali ku ludda lwe.

Ssekasamba  woofiisi ya ba Boda bodaboda e Nansana alutuviiridde ku ntono ng’agamba nti bakkondo bano  baamupangisa abatwale e Kawoko naye bwe baatuuka mu kusasula ssente yagenda okulaba nga bamutema era n’akuba endulu.

Agattako nti abatuuze baamuwulira ne bamudduukirira n’ekyaddako kwe kubatayiza era omu ku babbi baamukwata era ddifensi n’amuddusa ku Poliisi ate omulala abatuuze baamukuba ne bamutta.

Ono asinzidde wano n’asaba obuyambi kubanga eriiso lye baateema limuluma. Kigambibwa nti ababbi bano  baava Nateete nga gye basinziira ne batigomya ebyalo eby’enjawulo.

Ate ye Jackson Ssentamu ng’ono ye yali nnanyini pikipiki nga mu kiseera kye kimu ye ssentebe wa ssiteegi y’oku Masitoowa e Nansana atugambye nga bwe baamukubira essimu ne bamutegeeza nga bwe baali batemye mutabani we yagwawo ekigwo nga n’ekidfako takiraba.

Ssentamu yeekubidde enduulu n’asaba abazira kisa okuyamba ku mwana ono kubanga takyalina ky’akola ate nga yeetaaga obujjanjabi.

Agamba nti ababbi batemye nyo abavuzi ba bodaboda abavugira ku siteege yaabwe naye nti omu ku bbo yakwatibwa ate omulala n’attibwa.

Ye ssentebe w’aba bodaboda mu divizoni y’e Nansana Rashid Musa ategeezezza ng’obubbi bwe bukyase mu Nansana naddala ababba pikipiki ng’ate abasinga ababbi bava Nateete era ne bano abatema munnaabwe gye baava.

Musa agamba nti tebagenda kukkiriza kuttibwa bwe batyo era ne yeewerera ababbi abagezaako okubbira mu Nansana nti bave ewaabwe nga bamaze okukola ebiraamo kuba buli gwe bagenda okukwatako nabo bagenda kumutta.

Kyoka ekiro ekikeesezza olwa leero waliwo abavubuka ababadde basazeeko ekyalo ky’e Nansana nga bakutte ebijambiya nga bano abatuuze babazinzeeko ne bakwatako omu  abalala ne badduka era gwe bataayizza bamukubye n’afa.

Let others know by sharing

Leave A Reply

Your email address will not be published.