Trusted News Portal

Abalimi B’Ebinazi e Buvuma Bakungaanye Okwetaba mu Lukungaana Lwa Bonna

0

Abalimi b’ebinazi mu bizinga by’e Buvuma abeegattira mu kibiina ky’obwegassi ekya Buvuma Palm Oil Growers Cooperative Society Limited bakungaanye mu bungi okubeerawo mu lukiiko lwa bonna olwa buli mwaka (AGM) nga luno lutudde Ku woofiisi yaabwe esangibwa e Maggyo mu ggombolola y’e Nairambi mu disitulikiti y’e Buvuma.

RDC w’e Buvuma, Jackeline Kobusingye Birungi y’akuliddemu enteekateeka eno ng’omugenyi omukulu sso nga ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma, Adrian Wasswa Ddungu, Emmanuel Mukama ku lw’ekitongole ekikulira okulima ebinazi mu Uganda, n’abakulembeze abalala baatudde dda.

Abamu ku balimi b’ebinazi mu AGM.

Salim Maiso nga ye ssentebe w’ekibiina kino eky’obwegassi akulembeddemu abalimi abasoba mu 600 abaatandika Edda omulimu gw’okulima ebinazi okuviira ddala mu mwaka gwa 2021 nga we butuukidde olwa leero, ng’abo abasooka okusimba ebinazi byabwe byatandika dda okuteekako ng’era bano balina essuubi nti we bulituukira omwezi gwa August ne September, bano ebinazi byabwe bijja kuba bitandise okwengera.

Fred Kasango, akulira woofiisi y’abalimi b’ebinazi e Buvuma (Hub manager) mu lipoota ye ategeezezza nti bakoze ekisoboka okulaba ng’embeera z’abalimi zitambula bulungi.

Kasango agambye nti nga bakolagana ne Equity Bank, abalimi abasabye ssente mu nkola ey’okwewola batandise okuzifuna.

Mathias Ssekaggya, ssentebe w’olukiiko olulondoola emirimu gy’ekibiina ky’obwegassi agambye nti bingi ku byalo bitatambula bulungi we baatuuka mu AGM omwaka oguwedde, bisobodde okugonjoolwa era kati buli kimu kitambula kinnawadda.

Ssekaggya agambye ng’ekibiina baatunda emigabo egisoba mu 500 ku mitwali etaano buli mugabo era nti zino mu kittavvu ky’ekibiina gyeziri.

 

Let others know by sharing

Leave A Reply

Your email address will not be published.